TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri omukazi gy’akuuma ensulo n’etekalira

Engeri omukazi gy’akuuma ensulo n’etekalira

By Musasi wa Bukedde

Added 30th October 2018

EMBEERA ya Nnabukalu kye kimu ku bisinga okweraliikiriza omukazi agenda mu kisaawe okuzannya akapiira.

Herbs1 703x422

Nnaalongo Aisha Nanfuka ng’anoga ekiyondo ekyeru.

EMBEERA ya Nnabukalu kye kimu ku bisinga okweraliikiriza omukazi agenda mu kisaawe okuzannya akapiira. Omukazi atalina nazzi ga kyama tafuna ssanyu eran’omusajja tayinza kunyumirwa  muzannyo nga munne amukalabula.

 

Olw’okuba omukazi akimanyi nti buvunaanyizibwa bwe okubeera n’amazzi agamala

basobole okunyumirwa omukwano, bangi banywa ebiwooma n’ebikaawa, basobole okufuna ttaapu etobya omusajja olwo akakase nti ddala omukazi gwe yafuna ddala anyumisa ekyeso.

 

ANI AVUNAANYIZIBWA KU MAZZI

Buli mukazi azaalibwa ng’alina amazzi g’ekyama. Era omuwala bw’atandika okuvubuka, amazzi gano oluusi gatandika okuvaayo nga matonotono, naddala mu biseera mw’asuulira eggi. Amazzi ago gaba meeru era nga galimu akanaanuuka ng’eminyira .

 

Omukazi bw’afuna obwagazi amazzi gateekwa okujja mu bukyala. Mu kusooka gaba

ganaanuuka okuseereza ekkubo. Wabula omukazi gy’akoma okufuna obwagazi amazzi gagenda gakyuka, okutuukira ddala kwago g’afuna ng’amazeemu akagoba.

 mukazi ngayiira mukwano gwe amazzi Omukazi ng’ayiira mukwano gwe amazzi.

 

 

LWAKI ABAKAZI ABAMU BANNABUKALU

Wadde buli mukazi alina obusobozi okuba ne ttaapu efukumula ag’emugga, waliwo oluusi

embeera eziremesa. Okugeza omukazi ali mu bufumbo nga talina ssanyu, kiba kizibu okufuna

ag’emugga agawera.

 

“Omukazi okufuna obwagazi ateekwa okuba ng’obwongo bwe butereevu era nga musanyufu.

Obwagazi bwe bujja olwo ng’omubiri gusumulukuka era nga ne ttaapu zizibukuka.

 

Omukazi alina ebimweraliikiriza tayinza kukuwa mazzi gaggweera ne bw’omunoonya okuva ku nkya okusuula enjuba. 

Ekirala, endwadde ez’engeri zonna zikosa omukazi n’atafuna mazzi. Ate bwe kituuka ku

ndwadde z’ekikaba kiyitirira kubanga ayinza okuba ng’alumizibwa mu bitundu

ebyegatta era wano kiba kizibu okufuna amazzi agawera.

 

Waliwo n’abagamba nti enkola za kizaalaggumba zirina engeri gye zitaataaganyaamu ttaapu omukazi n’akala. Kino bakyesigamya mu nsonga nti ebikozesebwa okugema okuzaala omuli empeke, kapiso n’ebirala, bikenddeeza ku mubisi mu mubiri ogukola amazzi gano.”

Kevin Gitta Nyanja akola ku nsonga z’omukwano agamba nti endwadde z’ekikaba ze zisinga

okuvaako obuzibu kuba zizibikira enseke ezifulumya amazzi gano olwo omukazi n’abeera mukalu.

 

EBIKA BY’AMAZZI

Buli mukazi yakula bubwe era nga bulyoomu ttaapu ye efulumya amazzi ag’enjawulo okusinziira ku nkula ye. Kevin Gitta Nyanja annyonyola nti abakyala abamu bafulumya

amazzi emirundi etaano kyokka nga waliwo n’abatagiweza, naye nga tekitegeeza nti baliko

ekikyamu.

 

Ono agamba nti amazzi agasooka gajja ng’omusulo wabula kino kikola nnyo ku bawala naddala abo ababa beegasse n’abantu be batayagala. Kino abasinga baba bakyetegekedde era kizibu omusajja okukizuula.

 

Amazzi agookubiri, g’ego ng’omukyala ali mu muudu y’okwegatta era nga munne amaze okumuteekateeka. Gano gaba ganaanuuka ng’eminyira era gano ge gaaniriza enkasi.

Wabula Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abafumbo agamba nti omusajja bw’ayisa

omukono n’azuula ng’amazzi gano gyegali, tekyandibadde kirungi kuyingira nnabunnya.

Mukisa agattako nti ssinga omusajja aba awulira ng’aweddeyo, asobola okwegatta

wabula ateekwa okusigala ng’anoonya munne olwo ensulo zireme kukalira.

 

Ekika ekyokusatu geego agakola amaloboozi nga muli mu nsiitaano era mu kiseera kino, ebitundu bino naddala eby’omukyala biba byesooza wamu n’okwesenya nga naawe osobola okubyewulirako nga muli e Namboole.

 

Agookuna g’ego omukyala g’afulumya ng’atuuse ku ntikko. Gano oluusi oyinza obutagalaba kuba abamu tegafuluma mu bukyala, wabula owulira nga geeyongedde mu bukyala.

 

Agasembayo geego agajja nga mumaze okwegatta era nga gano gabaamu oluzigozigo.

 

KISOBOKA BULI LUNAKU OKUBEERA NE TTAAPU

Ekimu ku bitakuza abasajja abamu emitwe kwe kuba nti bakyala baabwe olumu baba

n’amazzi ate olulala ne gabula. Kino kireetera abamu okulowooza obolyaawo bakyala baabwe baliko ebiragalalagala bye bakozesa mu nnaku ezimu ekintu ekitali kituufu.

 

Edith Mukisa abuulirira abantu yagambye nti tekisoboka mukazi kuba na taapu buli lwe mwegatta. Ono annyonnyola nti ebintu bingi ebitawaanya abakyala ebitabaganya kubeera na mazzi lubeerera nga muno mwe muli n’ekyokubeera nti buli gye weeyongera okukula, n’amazzi gano gye gakoma okukendeera sso nga mu bavubuka, olw’ebintu ebitali bimu, amazzi gano gasobola okubula.

 

Ayongerako n’annyonyola nti buli mukyala alina ‘menstral cycle’ era nga mu kiseera w’abeerera nga yaakava mu nsonga ze, abeera n’amazzi matono sso nga mu kiseera ng’asudde eggi, abeera n’amazzi mangi olw’obwagazi bw’abeera nabwo. Kino agamba nti kye kimu ku bitabula abasajja. 

 

Ono ayongerako nti, n’engeri abasajja abamu gye bakwatamu bannaabwe nga bagenda e Namboole nayo oluusi tesobozesa mukazi kubeera na g’emugga.

 

EKYAMA EKIRI MU BAKAZI B’OMU ANKOLE

Natukunda Kemigisha ow’e Luzira agamba nti edda mu buwangwa bw’Abanyankole, omuwala bwe yawezanga emyaka 11 oba12 nga tanneegatta na musajja, mwannyina yattanga

ekinyonyi ekiyitibwa ‘Ekishamutuutu’. Yakyokyanga ne kisiriira, evvu ne baliteeka mu mmere

y’omuwala n’alya.

 

Okusinga evvu lino baalitabikanga mu nva z’ebinyeebwa, entula oba katunkuma. “Kyokka olw’abawala okukeera okuganza abalenzi ennaku zino, kati eddagala lino balibawa

ku myaka 9 oba 10.

 

Eddagala lino likozesebwa emirundi esatu mu wiiki okumala omwezi oba okusinziira ku mazzi omuzadde g’ayagala muwala we abeere nago. Kino kye kireetera abamu okubeera n’amazzi agasukkiridde agatobya n’obuliri nga yalwawo ng’akozesa eddagala lino.” 

 

Kemigisha agamba nti mu kiseera ng’omuwala alidde eddagala lino, omusulo gw’afuuyisa n’amazzi g’ekyama agamuvaamu gava n’olusu, wabula w’atuukira mu kiseera ky’okufumbirwa abeera yatereera nga takyavaamu lusu Kemigisha ateebereza nti

abasawo abagaba eddagala erizibukula ensulo bandiba nga bagattamu evvu lino nga y’ensonga lwaki abakazi bwe balikozesa bavaamu olusu. Wano mu Buganda ekishamutuutu ly’ekkookootezi.

 

ENGERI GY’OLWANYISA EMBEERA YA NNABUKALU

Nnaalongo Aisha Nanfuna ow’e Kalagala, Ntenjeru annyonyola nti ebizibu by’obwannabukalu nazzikuno abakyala tebaabirinanga kubanga baali bamanyi ekikolo n’eddagala.

 

Agamba nti waliwo eddagala egganda erimanyiddwa mu kuvumula ekizibu kino omuli;

 

Ekiyondo ekyeru; Kino kirimu amazzi era ng’okukyeyambisa olina okukisekula n’okamulamu amazzi agakirimu. Gano g’okozesa okutawaaza mu bukyala. Kino bw’oba okikozesezza kikuyamba ne kukwefunza. Mu ngeri y’emu, ekiyondo osobola n’okukigaaya era ne kikuyamba.

 

Bwanda; Omuddo guno nagwo omukyala ali mu mbeera ya nabukalu gusobola okumuyamba ddala okuva mu mbeera eno. Ono mukunyize mu mazzi era nga gano ge weeyambisa

okunaaba wansi era n’ovaawo ng’oli talatibu. 

 

Olusiiti; Akaddo kano kawoomerera. Osobola okukakunya oba okugaaya obukoola era nga mu mbeera eno, obwannabukalu obeera obugobye.

 

Mutetere, Okra, Bamiya; Bino byonna bw’obeera obirya biseerera era nga bw’onyiikira okubikozesa, ttaapu yo ebeera jjulujulu. Yusuf Bukenya ow’omu Nyendo Masaka annyonyola

nti omukyala anaalwanyisa ekizibu kino asobola okweyambisa emirandira gy’amatovu

ng’agifumba olwo amazzi gano omukyala n’aganywa. 

 

Kino kiyambako omukyala okubeera n’ebbugumu era ng’omusajja wakutuukirako obeera bulungi ddala Rehema Namyalo ow’e Najjanankumbi agattako nti omukyala okunyumirwa akaboozi yandibadde nga yettanira n’olunyereketo ng’alugasseemu olutungotungo. 

 

Bino asobola okubikolamu ensaano n’agiteeka ku caayi oba n’agimansira mu mmere. Nyanja agattako nti mu birala omukyala by’asobola okweyambisa mu kulwanyisa embeera eno kuliko; ekifa bakazi nga kino kirongoosa enseke, musota taluma aleeta ssuppu, kafumitabagenda aleeta ebbugumu wamu ne ssupu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

Reb2 220x290

Atiisatiisa okusobya ku Basisita...

Atiisatiisa okusobya ku Basisita lwa ttaka

Lab 220x290

Looya alaze ekiyinza okumalawo...

Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa

Deb2 220x290

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero...

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero eryayidde e Rakai

Leb2 220x290

Emmotoka mwe ntambulira etuuse...

Emmotoka mwe ntambulira etuuse okunsuza ku kkuno-Bp. Ssebaggala