TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Baze yansuulira abaana alabirira ba balala

Baze yansuulira abaana alabirira ba balala

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2018

Baze yansuulira abaana alabirira ba balala

Sek2 703x422

NZE Eunice Natukunda 31, nzaalibwa Rukungiri naye kati mbeera Kamwokya Kifumbira.

Eno gye mbadde mbeera ne taata w’abaana wadde kati emyezi ena yadduka n’andeka mu nju n’abaana babiri.

Twalabagana ne taata w’abaana emyaka kati 10 era nga buli kimu kitambula bulungi. Wakati mu mukwano gwaffe, Katonda yatuwa abaana babiri naye omukulu nga talina binywa era abadde ku bujjanjabi e Mulago. Eky’ennaku, taata w’abaana yafuna omukazi omulala eyamusigula n’ansuulawo n’abaana nga kati sikyafuna bujjanjabi bwa mwana waffe kyokka omusajja ono annumba ne mukazi we ne banvuma n’okunkuba.

Taata w’abaana avuga mmotoka (kosita) ku luguudo lw’e Gayaza ku siteegi y’e Mpereerwe kyokka nga kati abeera Kiteezi gye yafuna omukazi omulala kati alabirira baana batali babe ng’ababe babonaabona.

Baze azaalibwa Mbale Butalejja era mu bazadde be nagendayo bannyambe naye nabo tebalina kye bannyambye. Landiroodi kati yangobye mu nnyumba kubanga tumaze emyezi ena nga tetusasula.

Nagenda ne nzigulawo omusango ku poliisi ku fayiro nnamba SD/Ref/25/05/06/2018 ne bayita baze ampe obuyambi ne yeeyama okumpanga 50,000/- buli wiiki okundabirira n’abaana kyokka byakoma mu bigambo.

Yasuubiza okumpanga obuyambi naye byonna sirina kye ndaba nga tetulina na kyakulya. Nandibadde nzira ewaffe gye nzaalwa naye maama wange yafa ate nga n’embeera si nnungi ewa taata. Kati njagala kufuna mulimu nga gunsobozesa okukola n’abaana bange kubanga bato omukulu wa myaka etaano ate omuto wa myaka ebiri, kale neetaaga okuba nga mbeera nabo oba nga mbeera kumpi nabo.

Alina omulimu oba obuyambi bwonna nkubira ku ssimu nnamba 0782734305 oba 0702480962. Ndi mwetegefu okukola ssinga mbeera nfuna omulimu kubanga nkooye okusabiriza baganda bange abaludde nga bandabirira okuva omusajja lwe yandekawo. Nsaba Minisita Nakiwala Kiyingi annyambe ku musajja ono tumukwate kubanga abasajja bagufudde muze okutuzaalamu abaana ne batulekawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...