TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja yanzigyamu eriiso lwa butamuganza

Omusajja yanzigyamu eriiso lwa butamuganza

By Musasi wa Bukedde

Added 28th November 2018

Omusajja yanzigyamu eriiso lwa butamuganza

Kap2 703x422

Omukwano gunyuma guli wakati w’abantu abakulu babiri abakkaanyizza okwagalana. Bwe guyingiramu omu okukaka omulala okumuganza, ogwo guba tegukyali mukwano era ebivaamu tebiba birungi.

Leero bw’otunuulira Ann Milicent Muwooya eyazaalibwa n’amaaso abiri agalaba obulungi nga kati yafuuka wa ttulu olw’omusajja okumukuulamu eriiso ng’agaanyi okumuganza tolema naawe kukwatibwa nnyiike.

Muwooya alabirirwa ekitongole kya Action Aid Uganda y’omu ku bakyala enkuyanja abataasiddwa ekitongole ekirwanyisa okutulugunya abakyala ekya Action Aid-Uganda.

Muwooya yatuukira ekitongole kino we kikuumira abantu abayise mu kutulugunya okw’ekika kino ng’ali bubi era agamba nti oboolyawo ssinga teyagendayo mu budde, yandibadde yafa dda.

Ebyamutuukako biyungula ezziga wadde nga kati wayise emyaka esatu bukya bimutuukako.

Tebimusangukanga mu bwongo era abinyumya nga ebyabaddewo Eggulo: “ Nali mukyala mukozi era nga manyi nti okukuuma enkolagana n’abantu kye kimu ku byali bisobola okukuuma bizinensi yange. Nalina saluuni yange era ng’okusiba enviiri gwe mulimu mwe nali nzigya ekyokulya.

Ku kyalo Masanafu kwe nakoleranga, era kwe nabeeranga anti nga nkolera miryango olwo nze n’abaana bange ne tusula emmanju. Ku kyalo kino kwe nasisinkana omusajja Sadik Zziwa. Ono ekyasinga okutugatta be baana be babiri abaataayayanga ku kyalo kyokka ate nga ndaba nti bali mu myaka gye gimu n’abange.

Namutegeeza nga bwe nali nsobola okumuyambako okukuuma abaana be emisana nga taliiwo olwo ye abakimenga ekiro. Ekisa kitta, nange saamanya nti nali nneesuula mu manyo ga mpisi anti waayita ekiseera kitono ate omwami ono n’afuna ekirowoozo kya ffembi okutandika okwagalana.

Olw’okuba nti baali bayawukana ne mukyala we, yantegeeza bwe yali awulira wabula nze ne mmusaba enkolagana eno esigale nga bw’eri olw’ensonga nti nalina baze ng’akolera Kenya.

Ekikolwa kino kyamunyiiza nnyo kyokka nali simanyi nti yali mujaasi. Abaana be nasigalambalabirira wabula yatandika ebikolwa by’okunnondoola era waliwo n’omulundi gwe yannumba ku mukolo gw’embaga gye nali henze ne mikwano gyange n’abeerako we yatuula olwo n’atandika okunkubira amasimu ag’okumukumu ng’ambuuza lwaki abaana be mbalese bokka.

ATANDIKA OKUNTULUGUNYA Wadde ng’omu sajja ono tetwalina nkolagana esukka kukuuma baana be, ebbuba lyamweyongera okutuuka nga October 9, 2015 bwe yayitiriza obukambwe. Yajja ne muganda we ku saluuni n’an nyanju layo nga mukwano gwe, nze nno muganda we n’amuddamu nsagiriza nti ‘nze wamma mukuumira ku baana’, ekintu kye samanya nti kyamunyiza.

Nabagabula caayi wabula ye n’amugaana era bwatyo n’afuluma n’adda mu mmotoka Natuma omwana amuyite kyokka n’alemerayo olwo ne nneesitula mmukime. Namusanga aswakidde era yambuuza kimu lwaki mmwegaana okumuswaza mu maaso ga muganda we.

Natambula ne mmuviira wabula kye saamanya kyali nti mu kiseera ekyo yali angoberera era bwe natuuka mu saluuni awaali watudde omugenyi nayitawo buyisi njolekere ekisenge kyange. Mba nsibawo oluggi n’alukwata era kye naddamu okuwulira z’empi ezaali zinkubwa.

Bino byonna okutuukawo, abaana bonna baali awo nga balaba n’omugenyi. Bano oluvannyuma yabasibira mu saluuni olwo nze n’anzigalira mu kisenge n’atandika okunkubisa solido. Oluvannyuma, yataganjula essimu yange era n’abeerako essimu ya mukwano gwange gye yakubako. Mukwano gwange ono yali mukyala kyokka ng’erinnya namuteekako lya musajja.

Yamukubira era mu bukambwe obungi n’amubuuza kye yali ayagaza mukyala we. Gwe yakubira yakimanyirawo nti nali mu buzibu n’ayita poliisi y’e Masanafu. Waayita akaseera katono, ne mpulira abakonkona ku luggi, Zziwa yayimuka agende alabe abatukon kona. Guno gwe mu kisa gwe nakozesa okudduka ntaase obulamu nga nnee yambisa oluggi lw’emmanju. Nakimanya luvannyuma nti poliisi ye yali ezze era ne boogera ne Zziwa mu Luswayiri n’ekyaddira kwe kubawa 20,000/-. Nagezaako okunoonya obuyambi okuva ku poliisi wabula ate kkooti n’etennyamba bwe yamuta.

Omusajja yaddamu okunnondoola gye nasengukiranga nga bw’ankolako effujjo okutuusa lwe yantuusako obulabe obwavaako okuvaamu eriiso erimu bwe yampamba n’anjiira asidi. Olwamala okunjiira asidi ate n’alumba abaana bange mu nnyumba, n’atikka buli kya mu nju oluvannyuma ennyumba yonna n’agiyiira petulooli.

Ng’amaze okutikka ebintu, yategeeza abaana bange nga bwe yali antutteko okucakala wabula nti bo yali waakubaleetera sswiiti. Mu kiseera kino kyonna, nze nali ntaawa mu kiyumba mwe yali ansibidde.

Ekyewuunyisa mu kifo ky’okuleteera abaana bange sswiiti yabagulira musubbaawa n’agubawa bagukoleeze. Ekyayamba abaana bano engeri gye bataalina ngoye ng’azibambudde, baatya okukoleeza omusubbaawa.

Wayitawo ekiseera, abantu ne banzuula gye nali nsibiddwa ne banzirusa mu ddwaaliro e Mengo. Omusajja ono yasigala annondoola ng’ayagala okunzita nga kino kyampaliriza okuddukira mu ddwaaliro eddala.

ACTION AID ENNYAMBA Omuserikale omu ye yannyamba n’antwala awakuumirwa abatuusiddwako okutulugunyizibwa awassibwawo ekitongole kya Action Aid. Bwe natuukayo nafuna okubudaabudibwa ne bantwala mu ddwaaliro nga kw’otadde n’okugoberera omusango gwange.

Ekitongole kino okuyingira mu nsonga zino kyannyamba era Sadik yabonerezebwa bwe yasalirwa ekibonerezo kya myaka 6 nga mu kiseera kino ali mu kkomera. Mmaze ebbanga lya myaka 3 nga ndabirirwa ekitongole kino era kiteekateeka kunsiibula wabula nnina okutya nti Sadik yandiddamu okuntulugunya ng’afulumye ekkomera kubanga yagenda awera nti waakiri okufa oba okumwagala.

ENGERI ACTION AID GYE KIYAMBAMU ABATULUGUNYIZIDDWA

Nivatiti Nandujja akwanaganya ebikwata ku ddembe ly’abakyala mu kitongole kya Action Aid Uganda annyonyola nti omukyala yenna bw’abatuukirira nga ali mu mbeera eno, ekintu ekisinga obukulu kye basookerako kwe kuggulawo omusango ku poliisi ne balyoka bamuwa obujjanjabi obusookerwako. Bwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funa1 220x290

Engeri abakola mu bbanka gye babba...

POLIISI mu kubuuliriza kwayo ku mukozi wa Barclays Bank, Nashiba Naiga agambibwa okubba obukadde 190 ku akawunta...

Sula 220x290

Abadde yeefudde mmo okubba abagagga...

POLIISI ekutte omukazi agenda mu bbaala ne wooteeeri ez’ebbeeyi okusikiriza abasajja okumukwana oluvannyuma n’abakuba...

Theresamay 220x290

Katikkiro wa Bungereza bamukase...

KATIKKIRO wa Bungereza Theresa May ofiisi emutudde mu kifuba n’alekulira. Alangiridde nti agenda kuwaayo ofiisi...

Temya 220x290

Bba wa muwala w'omugagga Ntakke...

BBA wa muwala w’omugagga Gaster Lule Ntakke ayitibwa Arthur Kizito 44, akubye abooluganda n’emikwano encukwe bw'asangiddwa...

Genda 220x290

Maneja mu wooteeri e Seeta attiddwa...

ABANTU abatannaba kutegeerekeka bawambye abadde maneja avunaanyizibwa ku bayimbi mu kifo ekisanyukirwamu ekya MURS...