TOP

Embeera gy’otolina kugumiikiriza mu maka

By Musasi wa Bukedde

Added 4th December 2018

DDALA omukyala yandinobye ddi? Ekisookera ddala, nga bwe tubadde twogera wiiki eziyise, kyandibadde kirungi buli mukyala omufumbo n’asigala nga mufumbo era n’asigala mu maka n’akuza abaana.

Journalist 703x422

Bano baabadde mu kifo ekisanyukirwamu gye buvuddeko.

N’ekirala omukyala olina okulaba nti obufumbo obuyingira nga ddala. Kubanga waliyo abakyala nga si bafumbi wabula nga bayisa bivvulu nti nabo babaddeko mu bufumbo. N’ekirala weetegereze omusajja gw’ogenda okufumbirwa.

Ennaku zino abantu bangi bagenda mu bufumbo naye ng’ekinene bamaze omwaka gumu nga bali mu mukwano. Bw’oyingira obufumbo ng’opapa manya nti era oyinza kubuvaamu.

Kubanga oba teweetegerezza munno bulungi. Jjukira nti omwaka ogusooka okusinga mubeera mu mukwano era ng’okusinga olaba birungi byereere era nga ne munno akulaga birungi.

Naye bw’omala okulwa n’omuntu otandika okulaba ebibi bye era olina okwebuuza oba ebibi by’olabye onoobigumira.

Okugeza onoosobola omusajja ng’alina abaana bataano. Onoosobola omusajja nga mulina enjawukana mu ddiini, abeera ne bazadde be.

Naye waliyo embeera nga buli ngeri olina okunoba oba obulamu bwo bugenda kufuuka kintu kirala.

1 Ssinga oyingira obufumbo n’otozaala mwana kyokka ng’omusajja akubonyaabonya akulangira obutazaala era akugamba oddeyo ewammwe talina buvunaanyizibwa ku ggwe yadde ku bantu bo.

Abantu be tebakwagala mu bufumbo era bakulangira. Tomwanjulanga era si by’aliko, muli mu nnyumba mpangise tagula mmere tagula kintu kyonna awaka, temwegatta, takutwala ng’ekikulu akukuba alabe nti omuviira, anywa nnyo omwenge era mwenzi, ddala mwana wange kiki ekikukuuma mu bufumbo bwe buti?

Kubanga omusajja akutwala nga kisaaniiko era n’abantu be ate takufaako ng’omukyala we.

Ate ne gye wandigenze mu bazadde be boogereko naye tebakwagala kati oba oliwo kw’ani?

Ebintu omusajja ono by’akola biraga nti takwetaaga era ayagala omuviire. Olina okweyiiya n’omuviira kubanga ekiddako ayinza okukuleka mu nnyumba oba okukukola ekibi omuviire.

2 Omusajja akukuba nga n’abaana bo balaba, akuvuma kumpi buli lunaku naye tasula waka era mumala emyezi nga temwegasse, ate ne bwe muba mwegatta naye takumatiza.

Omusajja talina buvunaanyizibwa awaka musula mu muzigo era ggwe ogusasula era ggwe olabirira awaka, wafuuka musajja. Tomwanjulanga era tayagala kumwanjula.

Ekikulu ky’akola bw’akomawo awaka kya kwegatta naawe era gy’abeera tomanyiiyo. Kati mwana wange oliwo ku lw’ani?

Nze ndaba weerabirira wekka n’abaana ate abaana tebagenda kukula bulungi kubanga bwe balaba nga muzadde waabwe omu atulugunyizibwa bakula n’obweraliikirivu.

N’ekirala emirembe egy’okukuba abakyala gyaggwaawo. Buli mukyala gwe baali bakubyeko okimanyi nti owulira bubi okusinga mu mutima n’ebirowoozo. Obulumi bw’omuggo nabwo weebuli naye ate okuweebuuka ng’omuntu kiyisa bubi omukyala kubanga otandika okuwulira ng’atalina mugaso.

3 Omusajja bw’akwatulira n’akugamba nti yakukoowa era tayagala kukulaba mu maka ge era n’atandika n’okukugamba nti ssinga tomuviira agenda kukutta oba okukukola ekibi. Mu mbeera eno olina okumuviira ne bw’aba nga yakuzimbira oba omulinamu abaana.

Tukimanyi era tubiraba mu mawulire ng’abafumbo beekoze ebikyamu naye ng’omu yakoowa munne era n’amugamba kyokka omulala n’agaana okumuviira. Abakyala bangi babeera mu mbeera eyo waggulu naye ne bagaana okunoba kyokka ebiddirira tebiba birungi.

Oyinza obutaba na mirembe okutuusa lw’ofa naye ng’embeera gwe kennyini ogyeteeseemu. Ab’ewammwe ne batuuka n’okukugamba omusajja omuviire naye ne weerema.

N’akuteekako ebisago era ekivaamu ng’ofudde. Kyokka olese abaana bo era n’abantu bo. Kale baana bange obufumbo bulungi era omukyala olina okugumira ebizibu ebibubeeramu.

Tosiba busungu, bw’olaba nga bizibu nnyo buulirako munno n’ekirala weekwate abantu abakulu b’osobola okubuulira ku bizibu by’osanga mu bufumbo.

Ennaku zino waliyo mpozzi abazadde abatayagala baana baabwe kubeera mu bufumbo, omwana bw’afuna ekizibu ekitono ng’abazadde bamugamba aveeyo.

Mwana wange, jjukira nti tosobola kutuula wammwe na baana bo, kale olina kuguma. N’ekirala ennaku zino waliyo ebibiina nga Mothers Union n’ebirala ng’ebyo ebiyamba abakyala abato okugumira mu bufumbo.

Weekwate omu ku bakyala abo akuyambe okugumya obufumbo. Ate leka kulowooza nti abo bonna b’olaba bali bulungi, nedda balina ebizibu ekikulu bamanyi engeri gye batambuza ebizibu byabwe.

Naye bw’obeera mu mbeera ng’eyinza okutwala obulamu bwo obufumbo buveemu oba oyagala obulamu. Teri kirina muwendo kwenkana bulamu, noolwekyo oteekwa okubukuuma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye