TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukwano gwannemesa okusoma obwalooya

Omukwano gwannemesa okusoma obwalooya

By Musasi wa Bukedde

Added 4th December 2018

NZE Mastullah Namatovu, mbeera Kisaasi. Omukwano kye kimu ku byantama kubanga gwannyonoonera ebiseera byange eby’omu maaso.

Tunula1 703x422

Mastullah Namatovu.

Mu S.3, nagenda ne nfuna omulenzi ne mwagala, wabula gye nakoma okumwagala n’okulumwa omutwe nga ne bye nnali nsoma sikyabitegeera.

Omulenzi ono kata annemese n’okukola ebigezo bya S4 kubanga bangobanga ku ssomero olw’okunsanganga nga mpepeya naye.

Bwe bangoba bansaba nzireyo ku ssomero n’omuzadde ne ganneesiba. Nejjusa obudde bwe nnamala n’omuvubuka oyo kuba sirina kalungi ke namufunamu kuba ne bazadde bange bannyiigira olw’okukola obubi mu S4, kyokka nga mu pulayimale nayitira ku ddaala erisooka.

Mu kiseera kino omuvubuka eyali ampaga simanyi na gye yalaga .

Ekisinga okuluma, bye nali njagala okusomerera saasobola kubituukako. Nali njagala kukuguka mbeere looya wabula bwe nakola obubi mu bigezo bya S4 amaanyi ganzigwamu nga ndaba sikyalina lugendo ne mbivaako.

Maama wange omuto yantwala okuyiga enviiri nga kati nkola mu saluuni wabula nga si kye kyali ekiruubirirwa kyange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pass 220x290

EBIKULU MU BUKEDDE W'OLWOKUBIRI...

Bawambye omwana omulala ne basaba obukadde mukaaga; bamusse omulambo ne bagusiba mu kadeeya.

Owakccangayogeramulukiiko 220x290

Ab'e Bwaise batabukidde aba KCCA...

“Twagala Pulezidenti Museveni y’aba atulagira okusasula kuba n’amazzi gakyatuyingirira mwe mulabika temuvudde na...

Kizito 220x290

Basajjabalaba alaalise okulwanyisa...

NNAGGAGGA Hassan Basajjabalaba asinzidde mu kuziika Charles Muhangi n’alabula abaggagga abaagala okutwala ebintu...

Rite6 220x290

Poliisi ekubaganye n'aba takisi...

Mu kanyoolagana akaabaddewo omuserikale eyategeerekeseeko erya Kasirye yakubiddwa ejjinja era ono yatwaliddwa...

Lekwa 220x290

Muhangi afudde akkirizza okuliyirira...

Ssentebe w’e Nsangi, Abdul Kiyimba yasabye Ruhakana Rugunda okugonjoola eby’ebizimbe ebikaayanirwa kubanga bwe...