TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Bboosi ayagala okusooka okukukozesa akuwe omulimu mwewale bw’oti

Bboosi ayagala okusooka okukukozesa akuwe omulimu mwewale bw’oti

By Musasi wa Bukedde

Added 4th December 2018

ABAVUBUKA bwe bamaliriza okusoma buli omu aba alwana okufuna omulimu akole era batandika okugunoonya.

Kuba 703x422

Bano baabadde mu kivvulu kya Amooti nga banyumirwa bulamu.

Kyokka bangi basanga obuzibu okuweebwa emirimu gye baba bagisabye olw’obulippo bwe bayitamu ng’abagigaba okusooka okubakozesa okugifuna wadde nga n’abamu bakkiriza ne bakozesebwa kyokka bakomekkereza tebagibawadde.

Emirundi egimu, abavubuka bano bandibadde basobola okubuuka obutego bwa babboosi abaagala okubakozesa naye kibalema olw’obutamanya bye bateekeddwa kulabirako oba engeri y’okweyisaamu.

Eno y’engeri gy’oyinza okulabirako bboosi ayagala akaboozi alyoke akuwe omulimu n’engeri gy’oyinza okumwewalamu.

1 AMANNYA GAAKUYITA: Abakozesa abamu bwasiima omuwala ayinza okumuyita amannya omuli bbebi ne bw’aba tannakumanya nnyo.

2 OKUMWENYEREKETA Sikibi akuwa omulimu okuseka kyokka abamu bwe yeegomba omuwala oba omulenzi, basukka we bandikomye ne batandika okwesesaasesa nga kino emirundi mingi aba akikola okulaba obwangu bwo.

3 OKUKUKWATIRIRA: Abagagga oba bamaneja abamu bw’aba yeegombye omuvubuka bamanyi okukozesa omuze gw’okubakwatirira okugeza ku bibegaabega ne ku mikono.

4 ENTUNULA YE GY’OLI: Entunula y’omuntu ewa obubaka bw’amaanyi, abasajja oba abakyala bwe yeegomba omukazi amusaba omulimu, entunula ye gy’ali ekyuka n’atandika okwemoola.

5 AKUWAANAWAANA Omuntu yenna anaakuwa omulimu tekimwetaagisa kumala kukuwaana ne bw’oba omulabikidde bulungi waakiri akisigaza mu mutima gwe n’asinziira okwo okukuwa omulimu. Naye alina ebigendererwa by’okukozesa atandika okukuwaana nga bw’okuyambadde akagoye akalungi oba nga bw’osala enviiri ennungi bw’oba mulenzi.

6 AFAAYO OKUMANYA OBA OKWATA AMASIMU EKIRO: Okuggyako ng’omulimu gw’osabye gwa kiro naye omulimu gwonna ogw’obuvunaanyizibwa bwe baba bagukuwa, essimu bagikukubira misana. Bw’olaba akola ku by’okukuwa omulimu akubuuza ebikwata ku ssimu yo mu budde bw’ekiro, omanya alina ensonga endala z’ayinza okwagala okukuyingizaamu.

7 OKWAWULA MU BANNO: Abamu balina omuze gw’okukwawula mu balala okugeza muyinza okubuuzibwa omulundi gumu kyokka ggwe n’akusaba osigaleko emabega oba akulabire mu kifo eky’enjawulo.

8 EBISAANYIZO BY’ATEEKAWO ERI ABASABA OMULIMU: Emirimu egimu balina ebisaanyizo bye bateekawo omuntu okusaba omulimu nga tebirina we bikwataganira okugeza, abamu balanga nga bwe baagala abawala balungi bokka ate abatali bafumbo. Kansala Rebecca Naluyima agamba nti; wadde bino bibeerawo, kyokka emirundi egimu omuvubuka amanyi ky’ayagala asobola okwewala okugwa mu butego buno ate n’asigala nga n’omulimu agufunye bw’aba akoze bino wammanga.

  1. KULEMBEZA BUYIGIRIZE BWO NGA OSABA OMULIMU WABULA SI BULUNGI BWO Omuntu bw’oba ogenda okusaba omulimu naddala abawala, leka by’osomye bye bibeera bikulembera obulungi bwo naye bw’onookulembeza obulungi n’amalindirizi gajja kusinziira okwo okukukozesa.
  2. FAAYO NNYO KU NGERI GY’OYAMBALAMU NG’OGENDA OKUSABA OMULIMU Abawala abamu bwe baba bagenda okusaba emirimu balina omuze gw’okwambala obugoye obusuula abagenda okugibawa mu bikemo nga butera kubeera bumpi nnyo.
  3. WEEWALE ENJOGERA EKEMA. Omuvubuka weewale okukyusa amaloboozi ng’oyogera kuba abamu bayitiriza okusiiya ng’alinga atemya ku musajja okubaako kyamusuulayo.
  4. BEERA MUKALU MU MAASO OBA KALA AMAASO: Omuvubuka yenna bw’olaba ng’alina okukuwa omulimu akwata ekkubo eddala, kituufu n’okala amaaso omubuulire nti by’akugamba si bye byakuleese era bw’aba waakukuwa mulimu ajja kusinziira okwo okugukuwa.
  5. SUUBIRA OKUWEEBWA OMULIMU OBA N’OBUTAGUFUNA Bw’oba ogenda okusaba omulimu, genda ng’osuubira okugufuna n’obutagufuna ng’omuntu ne bw’anaakugamba okusooka okubaako kye mukola okugufuna, ojja kuba n’omutima ogugaana kuba wabadde okimanyi nti oyinza okufuna oba obutagufuna. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pass 220x290

EBIKULU MU BUKEDDE W'OLWOKUBIRI...

Bawambye omwana omulala ne basaba obukadde mukaaga; bamusse omulambo ne bagusiba mu kadeeya.

Owakccangayogeramulukiiko 220x290

Ab'e Bwaise batabukidde aba KCCA...

“Twagala Pulezidenti Museveni y’aba atulagira okusasula kuba n’amazzi gakyatuyingirira mwe mulabika temuvudde na...

Kizito 220x290

Basajjabalaba alaalise okulwanyisa...

NNAGGAGGA Hassan Basajjabalaba asinzidde mu kuziika Charles Muhangi n’alabula abaggagga abaagala okutwala ebintu...

Rite6 220x290

Poliisi ekubaganye n'aba takisi...

Mu kanyoolagana akaabaddewo omuserikale eyategeerekeseeko erya Kasirye yakubiddwa ejjinja era ono yatwaliddwa...

Lekwa 220x290

Muhangi afudde akkirizza okuliyirira...

Ssentebe w’e Nsangi, Abdul Kiyimba yasabye Ruhakana Rugunda okugonjoola eby’ebizimbe ebikaayanirwa kubanga bwe...