TOP

Sikyalina ssanyu mu bufumbo

By Musasi wa Bukedde

Added 4th December 2018

SIRINA ssanyu mu bufumbo bwange naye nnina omusajja omulala era ansanyusa bulungi.

Ssenga1 703x422

Wabula tayagala baana era agamba nti okubeera nange nnina okufuna we nteeka abaana.

Ate musajja mufumbo. Nkole ntya? Wakola nsobi okufuna omusajja ate ng’oli mufumbo.

Okwendera mu bufumbo si kirungi. Sigaanyi mu bufumbo mubaamu ebizibu naye tekitegeeza kwenda.

Olina okulaba nga muteesa ne munno okulaba nga mufuna emirembe. Ekirala, oluusi enteeseganya ne munno eyinza okugaana olwo oba olina okweyambisa abazadde oba abantu abalala be weesiga.

Kirabika oyagala kunoba, kubanga olaba mutuuse okwogera ku ky’abaana.

Naye oyo gw’oyagala okugenda naye mumaze bbanga ki? Kubanga emirundi mingi nga waakayagala omuntu oyinza okulowooza nti ddala akwagala, naye nga naye alina ky’agoba.

Bw’akugamba nti olina okufuna w’oteeka abaana kitegeeza nti akulemesa okubeera naye.

Ekirala, omusajja ono mufumbo olowooza nti agenda kukuteeka mu maka? Oba ddala akwagala abaana yandibadde akkiriza okubalabirira.

Kitwale nti omwami ono ayinza okuba ng’akukozesa. Ndowooza wandibadde otereeza obufumbo bwo. Bw’oba obukooye, noba naye oleme kwendera mu maka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...

Buget 220x290

Palamenti eyisizza bajeti ya 2019/20...

PALAMENTI eyisizza bajeti y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja ogwa 2019/2020 nga ya Tuliliyooni 40 (Bwe buwumbi emitwalo...