TOP

Omusajja yandekera omwana omulwadde

By Musasi wa Bukedde

Added 5th December 2018

NZE Halima Bayiga, ndi musuubuzi wa manda nga mbeera ku kyalo Wampala mu disitulikiti y’e Buikwe. Ku myaka 19 gye nnina, neevuma olunaku lwe twayagalana ne Mubiru kuba andabizza ennaku sigitenda!

Sika 703x422

We twasisinkanira, nnali mbeera Bugembe ewa ssenga. Bwe yansaba twagalane, namubuuza oba alina omukazi n’aηηamba nti nze mukyala yekka gw’ayagala mbeere maama w’abaana be.

Kino kyaηηumya ne nfuna esuubi nti ne bwe nfuna olubuto, ηηenda bugezi ne mufumbirwa kumbe endowooza yange yali nkyamu.

Nga wayise ekiseera, nafuna olubuto ne mmugamba era nanzirukako nga kwa myezi esatu.

Ab’ebyokwerinda ku kyalo n’abafamire yange baamunoonya okutuusa lwe bamukwata ne bamusiba.

Baamukozesa endagaano okundabirira ne baamulagira okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe era n’alaga nti akkirizza.

Kyokka oluvannyuma yeecanga n’abagamba nti ye alina mukyala we eyali yaakalongoosebwaamu omwana era talina busobozi kupangisa n’akulabirira maka abiri. Naddamu okumulaba nga nazaala nga n’omwana awezezza emyezi ena.

Eby’embi omwana yazaalibwa ng’afulumira mu bukyala. Kati awezezza emyaka esatu naye tamuwa buyambi wadde ssente z’obujjanjabi.

Embeera enkaluubiridde kuba sirina buyambi, sirina mulimu ate n’abafamire yange baηηamba nti kye bankwatiddeko kimala noonye taata w’omwana atandikirawo.

Oluvannyuma nafunayo omusajja omulala n’ampasa n’omwana wange omulwadde ne tuzaala n’omwana omulala kyokka naye agamba asobola okugulira abaana ekyokulya naye ez’obujjanjabi tazirina kuba enfuna ye si ya mulembe.

Omwana namutwala mu ddwaaliro e Mulago ne bamufulumya ebyenda kati yeyambira mu mbiriizi naye obulumi alina bwamaanyi.

Kino kindeetedde ennaku ku mutima. Abasawo bansabye ssente omwana alongoosebwe ze sirina mu kiseera kino.

Nasazzeewo okujja ku Bukedde okusaba abazirakisa okunziruukirira n’obuyambi bwa ssente oba omulimu omwana wange alongoosebwe.

Alina obuyambi asobola onkuntuukirira ku nnamba y’essimu; 0758702473.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pass 220x290

EBIKULU MU BUKEDDE W'OLWOKUBIRI...

Bawambye omwana omulala ne basaba obukadde mukaaga; bamusse omulambo ne bagusiba mu kadeeya.

Owakccangayogeramulukiiko 220x290

Ab'e Bwaise batabukidde aba KCCA...

“Twagala Pulezidenti Museveni y’aba atulagira okusasula kuba n’amazzi gakyatuyingirira mwe mulabika temuvudde na...

Kizito 220x290

Basajjabalaba alaalise okulwanyisa...

NNAGGAGGA Hassan Basajjabalaba asinzidde mu kuziika Charles Muhangi n’alabula abaggagga abaagala okutwala ebintu...

Rite6 220x290

Poliisi ekubaganye n'aba takisi...

Mu kanyoolagana akaabaddewo omuserikale eyategeerekeseeko erya Kasirye yakubiddwa ejjinja era ono yatwaliddwa...

Lekwa 220x290

Muhangi afudde akkirizza okuliyirira...

Ssentebe w’e Nsangi, Abdul Kiyimba yasabye Ruhakana Rugunda okugonjoola eby’ebizimbe ebikaayanirwa kubanga bwe...