TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebituuse mu bantu mu mukwano: Omusajja anzirira emmere

Ebituuse mu bantu mu mukwano: Omusajja anzirira emmere

By Musasi wa Bukedde

Added 6th December 2018

NZE Josephine Kabagumya 22, mbeera mu Zooni 7 Kiwuunya Makerere Kikoni A mu muluka gw’e Kawempe. Twasisnkana ne baze e Kasubi mu 2011.

Wa 703x422

Nnali mbeera mu bazadde bange nga nkyasoma. Baze yankwanira omwaka gumu era natuuka ne mmukkiriza okusinziira ku mukwano gwe yajja nagwo gye ndi ne bye yampaananga nti nze nsinga obulungi mu nsi.

Ebigambo bino byampaliriza n’okubula awaka nga mpulira sikyayinza kuba w’atali.

Nava mu ssomero ne tupangisa omuzigo mu Makerere gye twatandikira obufumbo bwaffe.

Nga wayise ebbanga, nafuna olubuto lw’omwana asooka ne mutegeeza era nasanyuka. Natuuka okuzaala nga tukwatagana bulungi.

Nga wayise emyaka ebiri, nafuna olubuto olwokubiri era ne ntegeeza baze nti nsuubire agenda kundaga essanyu lye yandaga ku mwana eyasooka bannange ku luno kyali kirala.

Baze yatabuka butabusi n’ankuba katono olubuto luveemu nga takyampa na buyambi waka nga bwe yakolanga ne nsigala kwebuuza kyatuuka ku baze.

Nakizuula luvannyuma nga baze yafunayo omukyala omulala era nga ye yamuwanga amagezi okumpisa obubi atyo.

Yatuuka ekiseera na ndagira olubuto nduggyemu naye ne ηηaana kuba omwana wange mmwagala.

Nasigala nkola buli kimu ng’omukyala awaka. Ekyasinga okunnuma nga mugya wange ye tayoza era nga bwe ziwera ng’azisitula ng’azireeta ewange nga njoza.

Ebyo nnali mbigumidde, baze n’atuuka ekiseera ng’anziririra emmere era nga bw’akomawo ne mujjulira emmere ne ngimuwa ng’agikwata n’aginjiira ate bw’aba caayi n’amuyiwa n’ankasukira ekikopo.

Okusinziira ku mbeera eyo, natuuka ekiseera ne nejjusa ekyanzigya mu ssomero naye nga sikyalina kye nziza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja