TOP

Ettamiiro lya baze limuntamizza

By Musasi wa Bukedde

Added 7th December 2018

OMUSAJJA gwe nafuna assussizza ettamiiro n’atuuka n’okwerabira obuvunaanyizibwa bwe awaka. Nze Jackeline Kunihiira 27, Mbeera Salaama Munyonyo.

Liki 703x422

Kumihiira

Twalabagana ne munnange kati emyaka ena. Okunkwana yansanga mu katale ka USAFI gye nnasiikiranga cipusi.

Olw’omukwano ogw’ekimmemmette gwe yandaga nga twakasisinkana, nalowooza nti osanga Mukama ayanukudde essaala yange ey’okumpa omusajja afaayo. Ate nga simulabamu muze gwonna.

Naye nga bwe bagamba nti nawolovu tafi ira ku bbala limu, ne baze yatandika mpola okukyuka mu mbeera ne mu mpisa olwo ng’atandise okudda amatumbibudde ate ng’atamidde.

Naye olw’okuba nnali mmwagala okukamala, saasooka kukifaako nga ndowooza nti osanga munnange anaasobola okwepimira omwenge gw’anywa n’asobola n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe ng’omusajja.

Nga bwe baagereesa nti ekiwoomereze kizaala enkeenku, wenjogerera bino baze yafuuka waddanga omwenge yagufuula mmere ya buli lunaku. Ssente zonna z’afuna aba alowooza kuzinywamu mwenge.

Kati awaka yafuuka kifaananayi kuba tewali kyatuwa era nze ntetenkanya ng’omukazi mu ssente entono ze nfuna mu kutambuza eby’okunywa nga sooda n’amazzi bye ntundira ku City Square ne ndabirira muwala wange kubanga omusajja obuvunaanyizibwa bwonna yabundeekera. Omwana ne bw’alwala, aba tayagala kumanya.

Nzijjukira KCCA bwe yankwata enfunda eziwera nga ntambuza sooda ne bantwala e Luzira enfunda bbiri.

Eno namalayo wiiki bbiri naye omusajja teyalinnyayo mu kkomera kundaba ate nga yali akimanyi.

N’okutuusa kati neebuuza ddala ono musajja ki atafaayo wadde nga munne afunye obuzibu! Kati ndaba mulabe ne bw’aba awaka, sikyamulinamu ssuubi.

Mu butuufu simanyi kyakukola naye nsaba kumpa ku magezi kuba embeera z’omusajja buli lukya zongera okunneeraliikiriza olw’obulamu bwe mpitamu n’omwana wange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu