TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebireetera omusajja okusuulawo omukazi gw’afunyisizza olubuto

Ebireetera omusajja okusuulawo omukazi gw’afunyisizza olubuto

By Musasi wa Bukedde

Added 11th December 2018

Ebireetera omusajja okusuulawo omukazi gw’afunyisizza olubuto

Man2 703x422

Omuwala ali olubuto ng’ali mu birowoozo.

ABAKAZI bangi bw’afuna omusajja ky’asooka okulowozaako kumuzaalira asobole okumwefunza. Wabula era eriyo n’abasajja abakwana nga bw’asaba omukazi amuzaalireyo omwana amufaanana.

Naye ate oluusi olubuto bwe luyingirawo, omusajja nga yeesikamu era abamu asalawo kudduka ku mukazi olwo mukaziwattu n’asigala mu bbanga.

LWAKI ABASAJJA BADDUKA Waliwo abakazi abalowooza nti ssinga azaalira omusajja olwo abeera amwefunzizza, nti era ekiddako mikolo gya kwanjula na mbaga. Wabula emirundi mingi tekiba bwekityo, era ng’eno y’emu ku nsonga lwaki abawala bangi abafuuka ba ‘single mothers’, wadde ng’abasajja ababazaalamu balamu tteke.

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana agamba nti endowooza abakyala gye balina nkyamu kuba omusajja okwegatta tekitegeeza nti ayagala kukuwasa. “Okuzaala edda kyatwalibwanga nti kikulu era ng’omukyala atwala obudde okwetegereza gw’agenda okuzaalira.

Nga n’abasajja tebamala gafunyisa bakyala mbuto nga si beetegefu okubawasa. Naye ennaku zino abasajja okuzaala mu mukyala bakitwala nga kya bulijjo era tekitegeeza nti afuuse mukaziwe kuba kati abasinga yeegatta n’omukyala si lwakuba nti amwagala wabula lwa kinyumu oba nnyonta y’akaboozi ate ng’abamu omukyala abeera akimanyi bulungi nti omusajja oyo tamwagala.

Wabula omukyala olw’okwagala okusikiriza omusajja amwagale oba ayongere okumufunza asalawo kuzaala mwana. Noolwekyo abakyala balina okukimanya nti okwefunza oba okwagalwa omusajja tekuba kumuzaalira mwana, wabula omuntu aba akwagala nga ggwe nga ne bw’omuzaalira omwana ng’omutima gwe teguli ku ggwe tayinza kukwagala. Ebivaako embeera eno mulimu; 1 Aba takwagala.

Abakyala balina okukiyiga nti si buli musajja gwe weegatta naye nti aba akwagala. Abamu baba baagala kitundu ku ggwe era bw’amala okukifuna kiba kiwedde.

2 Abakyala eky’okufuna embuto nga temusoose kuteesa na musajja kibanyiiza. Omusajja ayinza okuba ng’alina essuubi ly’okukuwasa kyokka ng’akyalina bye yeekenneenya ku mukyala naye bw’alaba ng’omukyala apapirira okufuna olubuto ng’alowooza nti olina ebirala bye weenoonyeza ng’amuddukako.

3 Empisa. Abakyala abamu balaga empisa ennungi mu ntandikwa kyokka bwe bamala okuzaala nga balowooza nti kiwedde, olwo nga batandika okuyisa abasajja obubi. Ekivaamu ng’omusajja amuddukako.

4 Kiraasi omuwala gye yeetwalirako ng’omusajja akyamukwana.

Abawala abamu balaga abasajja ababakwana nti ba kiraasi ya waggulu, ekitiisa omusajja.

5 Okutya obuvunaanyizibwa. Abasajja abamu batya obuvunaanyizibwa bw’okulabirira amaka. Ow’ekika kino bw’amanya nti omukazi afunye olubuto ng’adduka.

6 Enjawulo mu mawanga. Abasajja abamu bafunyisa abakyala embuto nga tebasoose kubanoonyerezaako, kyokka bwe bamala okugeraageranya enjawuka zaabwe mu mawanga nga bakizuula nti tebajja kusobolegana.

7 Enjawukana mu ddiini nayo nsonga nkulu, era abamu kibaleetera okwawukana. 8 Okuzaala abaana ebweru kyafuuka kya bulijjo. Wadde abakyala kibalemye okutegeera naye balina okukimanya nti kati abasajja okuzaala abaana mu bakazi be batagenda kuwasa tebakyakitya, era kyangu okumulekawo ng’amuzaddemu.

9 Obuteesiga mukyala. Abasajja abamu asobola okubeera n’omuwala oba omukyala kyokka nga mu mutima gwe tamwesigangako wadde ng’abeera ayagala okwegatta naye era mu mbeera eno omukyala ayinza okufuna endowooza y’okuzaalira omusajja amwagale kyokka omusajja n’amwetegula bweteguzi kuba tamwesiga ng’omuntu kumufuula mukyala wadde amazaalidde.

10 Abamu ekigendererwa kyabwe kuba kufuna mwana si bufumbo. Abasajja abamu aba n’ekigendererwa kya kuzaalayo mwana mu nsi era asobola okulaga omukyala omukwano n’amusuubiza nga bw’amwagaza okumusika n’omukyala okwagala okwenywereza ku musajja yeekanga akkirizza okumuzaalira kyokka omusajja olumala okufuna omwana nga yeecangira ku mukyala ng’amusuulawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.