TOP
  • Home
  • Ssenga
  • ‘Bbebi ggwe lubiriizi olwali lumbulako...’

‘Bbebi ggwe lubiriizi olwali lumbulako...’

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd January 2019

Olubiriizi lwange Katonda yalumpisiza mu kitone kye yampa eky’okusuna gitta n’okuzannya katemba mwe nafunira omwana eyambikka laavu. Nze Emmanuel Tamale 23, mbeera Busega.

Solo 703x422

Mu bulamu bwange natyanga nnyo abawala era nga sibettanira kuba nalabanga mukwano gyange nga babonaabona olwa laavu.

Nasoma ne ntuuka okumalako S6 nga sirina muwala gwe neegwanyiza.

Wabula nga njagala nnyo okusuna endongo era eno nagiwanga obudde bwange obusinga.

Okumanya nnali njagala, ne bwe nnagenda ku yunivasite era nasigala ngisuna.

Bwe nnatuuka ku yunivasite, obwongo bwakyuka ne mmanya nnina okubaako essanyu lye nyongera ku kusuna gitta n’okuzannya katemba bye nanli nkola era ne ntandika okulowooza ku by’abawala.

Ku yunivasite nafunanga abawala bangi abaayagalanga okubakubirangamu gitta nga n’abamu baagala okubayigiriza, kyokka mu bangi be nasomesa n’okukubira gitta mwe mwajjira omuwala eyafuuka ensonga mu bulamu bwange.

Emyaka ebiri gye maze naye, bwe mba mmotoka napaakinga mu galagi ate sifuluma. Okuva lwe nnamufuna, buli kimu eky’oku nsi nninga eyakifuna.

Wadde nga we twasisinkanira nnali sirina ssente, omuwala yanjagala n’okutuusa kati omukwano gwe tagusalangako.

Mu byonna yamanya obunafu bwange kuba ndi musajja anyiiga amangu naye sisobola kumunyiigira oba nti twali tumazeeko essaawa nga twenyiigidde mu bbanga lye tumaze anti ne bwe tufuna ekitunyiiza, afuba okulaba ng’akola ekinsesa.

Okuva lwe twayagalana, lwe nakizuula nti mu nsi mukyalimu abawala abatali bayaaye.

Omuwala ono teyampaliriza kuva ku bye nnali njagala ng’okusuna gitta n’okuzanya katemba ate annyamba buyambi kwongwera kubikola.

Bbebi wadde sikwogedde linnya weetegedde naye nsaba olunaku Ebituuse ku bantu mu mukwano lwe tulyekyawa terukya.

Nkwebaza okunjagala mu mbeera yonna era nkusuubiza nti omukwano gwe tubaddemu mu 2018 ebadde ntandikwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...