TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omwana asussizza okummanja kitaawe eyeegaana olubuto

Omwana asussizza okummanja kitaawe eyeegaana olubuto

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd January 2019

NZE Faustah Nandaggo,38, mbeera Komamboga naye nga mu kusooka nnali mbeera Makindye mu Lusaka gye nnafunira omusajja anviiriddeko okusaba amagezi .

Ega 703x422

Faustah Nandaggo ne mutabani asusse okumubanja kitaawe

Mu mwaka gwa 2010 nafuna omusajja Godfrey Otingiro ne tweyagala era bwe waayitawo emyezi esatu n'ansaba akyale ewaffe era nakyala mu maka ga bazadde bange e Gomba.

Bwe twava mu kukyala yapangisa ennyumba ne tutandika okubeera ffenna era waayitawo emyezi mitono ne nfuna olubuto.

Bwe nnamugamba nti ndi lubuto omusajja yatabuka n’aŋŋamba nti olubuto si lulwe era talumanyiiko wadde.

Omwami wange yali akola gwakuyingiza masannyalaze mu bizimbe ng’akola ne kkampuni ya Rock Construction era ng'emirimu gye girimu okugenda ne bakola naye nga bamala ne bakomawo.

Lwakya lumu n'aŋŋamba nti agenda Mbarara kukola era n’ansiibula bulungi nga bw'aŋŋumya nti bagenda kumalayo wiiki ssatu alyoke akomewo kyokka bw'anaafunayo akadde ajja kukomawo andabeko.

Olubuto lwakula era ne nzaala omwana mulenzi naye omwami nga talabikangako, bwe waayitawo omwaka gumu n’ekitundu omwana yafuna olumbe olwamukuba ne bamuwa ekitanda mu ddwaaliro e Lubaga, baze bwe nnamukubira essimu okumugamba nti omwana ali bubi yajja mu ddwaaliro n’asasula n’ebisale by’eddwaaliro byonna n'atugamba nti akkirizza omwana wuwe kuba amulabye nti amufaanana.

Bwe twava mu ddwaaliro ye yagenda bibye naffe ne tugenda awaka bwe waayitawo wiiki emu yampita mu n'ampa emitwalo 10 n'aŋŋamba zigira zituyambako okutuusa lw'anajja era n'ansiibula bulungi ng’alaga akomawo.

Okuva olwo taddangamu kulabikako kyokka kati n’omwana agenda kuweza myaka munaana naye talabangako ku kitaawe ate n’abantu bonna be yandaga nga baganda be bwe mbatuukirira banziramu kimu nti bo tebamumanyi yali mukwano gwabwe so si muganda waabwe kyokka nga be baamuwerekera ne mu kukyala.

Ekisinga okunnuma nti kati omwana akuze kyokka buli bw'abeerawo yekka ng’ambuuza nti ‘’maama , taata wange aliwa?’’, nze muddamu kimu nti taata wo waali ojja kumulaba.

Naye mpulira ennaku ku mutima omwana buli bw'ambuuza kitaawe kuba kati simanyiiyo wadde n’owooluganda gwennyinza okulaga omwana.

Ngezaako okumukubira essimu naye bw'alaba ennamba yange tagikwata ate bwenkyusa ennamba n'awulira eddoboozi lyange ng’essimu agiggyako naye kinnuma kuba nnali njagala waakiri andagirire ewaabwe gy'azaalibwa ntwaleyo omwana alabe ekika kye kyokka omusajja yagaana .

Wano we nsabira abazirakisa bampe ku magezi ku nnamba eno 0774776680/ 0758695529 kuba omwana akuze ate asusse okummanja kitaawe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Khingt Kulabako wa UPC afudde

Khingt Kulabako wa UPC afudde

Lip 220x290

Nkumba by'esiba bikutuka e Misiri...

Nkumba by'esiba bikutuka e Misiri

Lab2 220x290

UNEB erangiridde ennaku z'okwewandiisa...

UNEB erangiridde ennaku z'okwewandiisa okukola ebigezo by'omwaka guno

Kab2 220x290

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph...

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph Oliach Eciru okubeera Omusumba w’e Soroti

Gav't eyimirizza okugabira abantu...

Gav't eyimirizza okugabira abantu emmere egambibwa okutabula Bannayuganda emitwe