TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nagujja wamponya ebigambo by’abantu

Nagujja wamponya ebigambo by’abantu

By Musasi wa Bukedde

Added 4th January 2019

OMWAKA guno nguyingidde eky’ebbeeyi kyange kiri ttu, era kinyambye okuswaza abaali bansekerera nti sirina waaka. Nze Jimmy Ssekabiito 24, mbeera ku Mwenda Bulaga ku lw’e Mityana.

Nv 703x422

Eby’omukwano nnali sibiriiko olw’embeera zange n’endabika yange nga bangi bagamba nti nakula ng’abakyala era sirina kye nsobola kukola.

Bwe nawulira ebyo, nansalawo okufuna omukyala mu 2018 nga gutandika era ab’e Bulaga olwabiwulira ne batandika okumusekerera nti omusajja gw’afunye yafa amaka wabula ye nga tabiwulira kuba yali amanyi ekituufu.

Nga wayise ebbanga, Nagujja yafuna olubuto olwo abaali banjogerera ebigambo ne bibakalira ku mimwa.

Kino kyampaliriza n’okweyanjula mu bazadde be n’okumukuba empeta.

Okumanya aboogezi tebakoowa, n’emikolo gyange banjogerera nti ndi mwana muto naye mpasa ntya naye ebigambo byabwe byanyongera amaanyi era omwaka oguwedde nga guggwaako, twakola omukolo gw’okwanjula nga December 15, ate enkeera nga December 16 ne mukuba embaga.

Nange okubalumiza ddala nafuna bandi n’entambuza okwetooloola ekyalo buli muntu n’atulaba n’ekyebbeyi kyange eno nga bwe tubawuubira ku mikono.

Ekirungi mukyala wange alina empisa, anjagala ate nange mmwagala era ampa ekitiibwa.

Ampaana nti nnina waaka era kye kisinga okunzizaamu amaanyi ng’omusajja. Kati twesunga kuzaala mwana waffe asooka era tusaba Katonda eby’okuzaala bitambule bulungi.

Sikyanyoomebwa mu bantu kuba n’abaali banjogerera kati bampita ssebo n’abamu okuneebuuzaako.

Mukyala wange musuubiza obutamukyawa n’obutamwongerako mulala okutuusa okufa bwe kulitwawukanya.

Mwagala nnyo era musuubiza okumuwa omuhabati ogusinga mu nsi era naye yansuubiza okunzisa omuhabati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...