TOP

Njagala ddagala

By Musasi wa Bukedde

Added 7th January 2019

NSABA kundagirira ku ddagala ly’okufuuyisa ku buliri.

Ssenga1 703x422

MWANA wange toyogedde myaka gy’olina naye okufuuyisa ku buliri ng’okyali muto tekirina mutawaana naddala abazadde bwe batafaayo kukuyigiriza kukuuma musulo.

Omwana yenna alina okukomya okufuuyisa ku buliri ng’awezezza emyaka ng’esatu.

Naye ate bw’afuna okuyigirizibwa okulungi asobola n’okukomya okufuuyisa ku buliri ng’awezezza omwaka gumu.

Omukyala yenna bw’azaala, omwana alina okumusimba nga tanneebaka era n’amumanyiiza okusituka bw’aba ayagala okufuuyisa.

N’ekirala era bw’agenda akula, akawago k’omusulo kakula nga kasobola okukuuma omusulo. Era n’akakuta akagaana omusulo okufuluma olwo nako kaba kakola bulungi.

Kati bw’okula nga tosobola kukuuma musulo, kitegeeza nti akawago tekasobola kugukuuma oba akakuta tekasobola kukola.

Naye waliyo abasawo ab’ekinnansi abasobola okukuyamba ku nsonga eno naye simanyi bw’ofuna mutuufu kuba abasinga bafere.

Naye ne mu basawo Abazungu oba badokita, osobola okufuna obujjanjabi naddala mu malwaliro amanene.

Nkubira ku 0772458823 twogere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...