TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Gwe nnali njagala okuwasa yaggyamu olubuto lwange

Gwe nnali njagala okuwasa yaggyamu olubuto lwange

By Musasi wa Bukedde

Added 7th January 2019

NZE John Kasibante nnina emyaka 27 nga mbeera mu Kigoogwa- Mityana. Lwali lumu nga nvubuse ne ntandika okusuula enkessi nange mbeereko n’omubeezi gwe nsobola okubeera naye.

Mr 703x422

Wano we nagwiira ku mwanamuwala gwe baali bayita Nowerinah. Omuwala ono ebiseera ebyo yali akyasoma nga nange nkyasoma newankubadde nga twali mu masomero ganjawulo era nga geesuddeko akabanga naye nga twesuubiza n’okwewasa ssinga tunaaba tumalirizza emisomo gyaffe.

Ekyammala enviiri ku mutwe bye biseera bye naviira mu ssomero ate naye n’avaamu kyokka nga nze nnali nkyayagala okusoma asingewo kubanga nalaba nga kya magezi okunywerera ku misomo gye.

Nnalowooza nti alabika anjagalira ddala ng’alabika atidde nti bw’anagenda mu maaso n’emisomo abawala abalala bayinza okunziba.

Mu biseera omuwala ono we yaviira mu kusoma, yali tannatuula bigezo bye eby’akamalirizo, era bwe nakimanya nti mu ssomero ayinza okuba ng’avuddemu olw’okuba nange nvuddemu, kyampaliriza okwogerako naye adde mu ssomero kyokka n’antegeeza nga naye bw’abikooye nga nange bwe nnabikooye.

Kino nakigumira ne ηηamba nti kasita naye muntu akuze ayinza okuba ng’akoze okusalawo okutuufu.

Nga wayiseewo akaseera, yafuna olubuto lwange naye ate ekyanneewuunyisa kwe kuluggyamu nga tewali na buzibu bwonna bwaliwo wadde okuyomba.

Omuwala ono oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto lwange, yambuulira kyokka bye yannyinnyonnyola saabimatira bulungi anti ng’ebimu tebikwatagana bulungi ng’ampoleza nti lwavuddemu lwokka.

Kyokka ate oluvannyuma nakizuula nti yaluggyamu mu bugenderevu. Nange awo we namwesonyiyira ne bye nnaliko eby’okwagala okumuwasa ne mbyesonyiyira ddala.

Okuva olwo omuwala ono nange natandika okumwewala n’okutuusa kati era tetukyayogera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Benitez22 220x290

Benitez munyiivu olwa Newcastle...

Newcastle yeggyeeko omutendesi Benitez oluvannyuma lw'endagaano ye okuggwaako.

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana