TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abakazi badibizza ppeti ne baggyawo akamasu k’omu kisenge

Abakazi badibizza ppeti ne baggyawo akamasu k’omu kisenge

By Musasi wa Bukedde

Added 9th January 2019

OBADDE okimanyi nti buli olukya omuwendo gw’abakazi oba abawala abatayambala buwale bwa munda gweyongera! Ab’engeri eno bagasseeko n’okudibya ppeti.

Teba 703x422

Abasinga bakikola lwa kwagala kutiribiza kabina ng’akamasu k’okusikiriza abasajja babagambeko.

Abalala beekwasa nti obuwale bw’omunda bubaleetera ebbugumu ne bubabuzaako emirembe so nga waliwo abeemulugunya nti bubasala mu mpataanya z’ebisambi gye bikoma waggulu ekibaleetera oluusi okutambula nga beesokoola.

Wabula olw’okutya okufuna obuzibu nga bali mu bantu n’obutakunama kisusse, abamu kati bambala ‘BBAYIKA’ egattawo byonna n’ekola ng’akawale ne ppetti.

Abambala bbayika bagamba nti zibawa emirembe ne batambula nga tabalina kye batya nti oba bayinza okugwa ne bakunama mu bantu.

Abalala bagamba nti ‘bbayika’ etangira olususu lw’ebisambi okwekuuba. Bwe gutuuka ku basajja abagala okulingiza abakazi, ‘bbayika’ ebalemesa kuba ebikka ebisambi era amaaso kwe gakoma.

Wabula mu kisenge ate embeera ya njawulo anti engeri abakazi gye batakyettanira ppeti kirina engeri gye kikosezza akabugumu akabeera mu mudigido ekivuddeko abasajja abamu okukoma ku kassaafaali akamu ne batafuna ‘ggaasi’ asaba nnyongeza.

Edith Mukisa omukugu mu kubuulirira abali mu bufumbo agamba nti ensangi zino abakazi bangi tebakyatya era bangi kumpi bayita bwereere nga y’ensonga enkulu lwaki ppetti bazidibizza.

Edda ppeti yakolanga ekikooyi mu ngoye ezitangaala ng’eyamba eby’omunda obutalabika wamu n’obutalaga bwereere bwa mukazi oba enkula ye ate nga n’omuntu agyambadde abeera aggumidde bulungi.

Ppeti eyamba omukazi okusigala ng’abuguma naye ennaku zino abawala oba abakazi akabugumu ka wansi tebakyakafaako nga y’ensonga lwaki tebakyanyumira basajja nga bali mu buliri okukkakkana nga kasafaali bakomye ku kamu ne watabaawo nnyongeza.

Ate omukazi bwe yagendanga mu nsonga nga teyeetegese nga ppeti y’esooka okukugira obutayonoona lugoye lwe.

Ennaku zino bantu tebakyatya bwereere ate bw’ogattako okukoppa misono awatali abakuba ku mukono ne kiyitirira. Bwe kwegasseeko abazadde abamu obutafaayo kulondoola na kukebera baana nga bava awaka ebbeetu ne lyeyongera.

Edda ng’omwana bw’aba ava awaka ng’abazadde basooka kumukebera oba ayambadde ppeti n’akawale k’omunda akatukula kuba bwe wafunanga obuzibu ku kkubo ne bakwambula nga yo ppeti esigalako. Yadde abakyala bettanidde nnyo bbayika nazo zirina ebizibu byazo.

Mukisa agamba nti bbayika teziwa bitundu bya kyama bbeetu kuyisa mpewo era zongedde nnyo okuleeta obulwadde bwa candida mu bakyala kuba ezisinga zirina matiriyo ya kapiira etayitamu mpewo ekiyamba akawuka k’omu bukyala okukula.

Ate kiyitirira ng’omuntu oyambadde n’akawale akakwata ennyo n’ogattako empale ya jjiini ekukwata, empewo n’ebulwa aw’okuyita.

Mukisa agamba nti abakazi abamu beekwasa nti ekibambaza bbayika bisambi kwekuuta naye abawadde amagezi okukozesa pawuda ayitibwa Hit prettly powder ow’abaana ayamba obutabutuka oba okutambulanga ne lotion yonna mu nsawo ng’ogera akabanga n’oyisaawo kikuyambe okubeera nga waseerera.

Ate bwe tuddako mu kisenge, okusobola okunyumirwa obulungi akaboozi omusajja alina okuba ng’asobola okwambula mukyala we naye abakazi abambala bbayika bazibuwalira abasajja okwambula kuba bambala zibakwata omubiri.

BATUUKA ALAGA EBIRUNGI BYA PPETI

Elizabeth Batuuka ow’e Kireka agamba nti ppeti kitegeeza buyonjo kuba ekko eriva ku mubiri lisooka kukwata ku ppeti nga terinnagenda ku lugoye lwa kungulu era kyekimu ne vesiti bw’otagyambala essaati eddugala mangu.

Ppeti ya buvunaanyizibwa ate omukyala yenna agyambala abeera n’akabugumu ate ng’asigala yeetaaya bulungi awatali byakumunyiga.

Ffe edda okwambala ppetti kyabanga kya buntubulamu naye ennaku zino abavubuka baggwaako ensonyi kuba n’obuwale bagenda babudibya.

Edda nga tusaaniika emmere n’eggumira bulungi y’ensonga lwaki n’abasajja b’ennaku zino tebakyasikirizibwa nnyo bakyala baabwe kuba babatuukako nga bonna bannyogoga n’abasajja ne baggwamu amaanyi.

Omukazi okanya kuyomba mbu omusajja tamalaako so nga ggwe omuleetedde obutamalaako olw’obunnyogovu obumukanga. Abakyala basaana baddemu okuyiga ‘okwesaaniika’ obulungi baggumire bave mu by’okutunda ayolesa y’amazaawo mangu baddeyo ku nnono yaffe.

Weewuunye mulimu n’abatayambala mpale, kati olwo bw’agwa ku buzibu? Ate Ronald Mubiru (wansi) ow’e Bbanda annyonnyola nti sikirungi abaagalana okuba nga bagenda mu kaboozi omusajja n’atuukira ku mubiri kwennyini, kiba kyetaaga omukyala ng’omutandika mpolampola okutuusa lw’otuuka ku nsonga.

Ffe bwetwabanga tuva awaka ng’abawala babeera ne ppetti munda nga ne maama bw’atabaawo taata yali yakiyiga okukebera buli muwala oba ayambadde ppetti naye eby’ennaku zino n’abazadde bennyini tebazambala ate n’ebiseera ebisinga abaana tebabeera nabo.

Amasomero nago gaayambangako okukaka abazadde okugulira abaana ppetti naye ennaku zino siraba ppetti bwe zibeera ku byetaago.

Abawala bagamba nti kati gulinga ogwafuuka omusono abawala okutambula ng’akabika kagenda kusagala.

Bagamba nti abatya okukunnumba nga temuli ka munda bambala buwale obwakazibwako erya G-string obw’oluwuzi nabwo obuwa ebbina ebbeetu okutambula nga lizina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba