TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukazi weemaleeyo mu kitanda omusajja aveeyo nga mumativu

Omukazi weemaleeyo mu kitanda omusajja aveeyo nga mumativu

By Musasi wa Bukedde

Added 9th January 2019

ABALOKOLE abafumbo bafungizza okunyweza amaka gaabwe nga bongera ebirungo mu laavu yaabwe.

Nature 703x422

Muky. Mukabi ng’annyonnyola engeri gy’otolina kubeera na nsonyi mu kisenge. Ku kkono ye bba Omusumba Mukabi.

Abafumbo mu Kkanisa y’Abalokole eya ‘Yesu Akwagala Kawempe Worship Centre” e Kawempe, Ttula baasomeseddwa obukodyo bwe basobola okweyambisa okukuuma amaka gaabwe nga maggumivu mu 2019.

Mu musomo guno ogwabaddemu abasomesa ab’enjawulo okwabadde Omusumba Sam Mukabi ne mukyala we Jaliya Mukabi, Dr. Deo Apollo Musisi amanyiddwa nga “ Big Dadi” ne Mukyala we Christine Musisi amanyiddwa nga “ Big Maami’, Abalokole baasomeseddwa obukodyo obusobola okubayamba okuwangaaza obufumbo.

Omusumba Sam Mukabi agamba nti tulina okukuuma obufumbo nga tetwawukana. Ne Bayibuli ekyogerako nti ekigattiddwa tewali alikigattulula ….

Agamba nti omwaka guno ogutandise abafumbo naddala Abalokole balina okumalawo ebitta omukwano mu maka. Mulekeraawo okwefuula ‘siriyaasi’ mu maka. Mwekuumire mu mbeera ey’okubeera nga muzannyamu awaka, mujja kulaba nga buli kimu kitambula bulungi. Siraba nsonga lwaki weefula omukambwe n’ossaawo obusungu awaka.

Bwe mubeera mu mmotoka yammwe okyayinza okusoobya omukono n’oguyisa okumpi ne ggiya n’okwata ku kisambi kya munno. Mugenda okutuuka gye mulaga ng’omukwano guli mu ggiya.

Awaka bwe wabeera nga wafunda ng’olaba kizibu okukolerawo omukwano muno tomulumya. Mutwaleko mu kifo ekirala naddala ekisirifu obulungi mwemale eggoga. Bwoba olumbiddwa omuzimu gw’omukwano gw’otategeera munno mubuulire akusalire amagezi oleme kukimalira ku bakyala balala.

Abaami mubeere bayiiya Munno mukolere ekyewuunyisa mu maka naye agambe nti omwami wange nga muyiiya.

Okyayinza okumulaga nti ogenda kumutwalako awutu mulye ku bulamu. Naye ssente bwe ziba zigaanyi mugulire ekintu ky’ayagala okulya okireete omugabule nga muli wabweru w’ennyumba.

Wano okyayinza okukyusa n’omugamba nti nabadde nkugamba kukutwalako awutu wa nnyumba .

Osobola n’okumuyamba ku birala. Okugeza musitulire ku baana, banaazeeko oba mukolere ne ku mirimu emirala. Ate abakyala baagala okubawaana! Bw’ava mu saluuni okusiba enviiri ne bwaba tanyumye nnyo muwaane nti ekisige bakisaze bulungi ne kinyuma.

Muky. Jalia Mukabi : Ensonyi muzeyambule abaami bammwe mubalageko kye mulinawo omwaka guno. Nze nange nali ntya okuteekako ettaala nga tuIi mu mukwano naye omwami wange yakinzigyamu.

Omusajja ayagala nnyo okulaba n’okwetegereza engeri mukyala we gye yawundibwamu.

Yatuuka n’okumbuuza nti nkyali mutono mu ka ffiga kange! Omukyala bwoba olina ensonyi okyayinza okutandika n’omusubbaawa ogulaga ekitangaala ekitono munyumirwe omukwano .

Olunaddako ettaala ereeta ekitangala ekitonotono, gye binaggweera nga ggwe oyagala ettaala ebeereko buli kiseera okusobola okwetegereza ebikolebwa. Mubeere balambulukufu eri mikwano gyamwe mu maka.

Abalokole abafumbo balaze bwe bassa ebbugumu mu laavu Ate Ssaalongo Fred Kamya ne Nnaalongo we, Milly Kamya nga be bakulira abafumbo mu Kkanisa eno bagamba nti omusomo guno gutegekebwa buli nkomerero ya mwaka nga tuyita abafumbo ab’enjawulo okutwegattako era ne tuleeta abasomesa abalungi mu kubuulirira ku nsonga z’abafumbo.

“Omulamwa gwaffe gugamba nti “Two stories , one Fresh “ nga twaguggye mu Bayibuli mu kitabo kya Mataayo mu Sula 19 olunyiriri 3-12.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe

Fut2 220x290

Omusawo bamukutte kufera bantu...

Omusawo bamukutte kufera bantu