TOP

Obwa Nnabukalu bungobako abasajja

By Musasi wa Bukedde

Added 9th January 2019

NNINA emyaka 17. Ndi mukalu nnyo, buli musajja gwe neegatta naye kyagamba era aba tayagala kuddamu kwegatta nange era we bikoma.

Ssenga1 703x422

OKUSOOKERA ddala emyaka gy’olina nze ndowooza wandibadde mu ssomero naye engeri gy’oyogera olaga nti waakeegatta n’abasajja bangi, mpozzi nga tosoma.

Ekirala ku myaka egyo abawala abasinga batya okufuna embuto n’endwadde ate babeera n’ensonyi. Kale mu kutya okungi, baba balina okubeera abakalu.

N’ekirala, simanyi oba ddala obeera n’omukwano n’abasajja abo be weegatta nabo kubanga awatali mukwano kizibu kufuna obwagazi.

Omukwano guleeta obwagazi kuba obeera weesunga munno. Ogambye buli musajja akulekawo n’agenda olw’obukalu naye abasajja be weegatta nabo babeera bakwagala? Kubanga omuntu akwagala takulekaawo afuba okulaba ng’ofuna obwagazi.

N’ekirala abasajja batono ayinza okukwatulira ekizibu ky’aba akusanzeemu oba nti oli mukalu.

Abasinga bwamala naddala nga takwagala akuleka bulesi era toddamu kumulaba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe

Fut2 220x290

Omusawo bamukutte kufera bantu...

Omusawo bamukutte kufera bantu