TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebbaluwa ya Ssenga: Kendeeza obukambwe ku mwana w’omusajja

Ebbaluwa ya Ssenga: Kendeeza obukambwe ku mwana w’omusajja

By Musasi wa Bukedde

Added 9th January 2019

MWANA WANGE bwe nnakyala ewuwo neewuunya engeri gy‛oyisaamu omwana w‛omusajja.

Ssenga1 703x422

Natya nnyo naye nali sisobola kukugamba ng‛omwami waffe waali. Obukambye obuyitiridde ku mwana w‛omusajja obuggyawa?

Omwana oyo talina musango nakamu ate weewunye omwana wamusanga mu maka. Ate n‛abaana b‛ogenda okuzaala baganda ba mwana oyo.

Oba oyagala oba toyagala, oyo ye muganda waabwe. Naye ate okubonyaabonya omwana ono kiva kuki?. Kubanga omwana ono omwami wo tagenda kumutwala walala kubanga mwana we era alina okubeera naye.

Ekirala simanyi oba okimanyi bulungi nti okubonyaabonya omwana yenna musango mu Uganda era omuntu yenna asobola okukuloopa. Osobola otya okulya emmere ng‛omwana oyo akulaba.

N‛asooka ayoza esowaani n‛alyoka alya emmere. Ne bw‛abeera mukozi awaka tosobola kumuyisa bwotyo.

Omwami waffe kubanga musirise nnyo naye kyemmanyi y‛ensonga lwaki agaanyi okweyanjula mu bazadde kubanga alaba talina gy‛akutwala. Era nawulirako nti ensonga mbeera ya mwana oyo.

Kati mwana wange oba tokimanyi, buli musajja ayagala afune omukyala ate nga maama mu maka.

Naye gwe embeera gy‛olimu awaka toli maama ate toli mukyala kubanga n‛omwami waffe nalaba nga tomufaako bw‛akomawo awaka.

Mwana wange obufumbo butuuse okukulema era ndowooza naawe okiraba kati emyaka giweze naye omusajja yagaana okumwanjula.

Olina okweddako obukambwe obungi tebusaana. Era teri musajja ayagala mukyala mukambwe.

Omwana talina musango era tolina kumuyisa bubi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera