TOP

2019 mwaka gwange ne bbebi’

By Musasi wa Bukedde

Added 9th January 2019

NNALI simanyi nti omukwano gunyiriza naye nkikakasizza kuba mu mwaka gumu gwe mmaze ne swiiti wange ntaddeko akanyiriro. Nze Caroline Kemirembe 23, mbeera Kawempe.

Vuma 703x422

Nga sinnafuna bbebi wange, nasooka ne mbeerako mu mukwano naye ebbanga ettono lye nagulimu natamwa omukwano gw’abalimba kuba balumya omutwe n’omutima.

Naye nga Katonda bwateerabira bantu be, yampadde omwana wattu ambiita nga bbebi.

Ebbanga lye tumaze ne munnange ono, ssejjusa kuba ye muntu ow’amazima gwe nnali ndabye ate ng’amanyi kye bayita okwagala.

Namala ebbanga nga sikolagana na balenzi era ng’oli bw’ankwana, ekyamaanyi kye mmukolera kumufuula mukwano ggwange, naye mukwano gwange ono yansukkako.

Okulabagana yansanga ku mulimu we nkolera ng’alina obuyimbi bw’ayagala ne mukolako n’andaga nti asiimye era n’ansiimira ddala.

Yansaba ennamba y’essimu ng’agamba nti olumu tabeera na budde bukomawo ku ddwaaliro kale ajja kuba ankubira nange kwe kugimuwa kuba yalabika okuba omwesimbu era wano we twatandikira.

Mu butuufu ono yakuzibwa kuba mu kusooka nalowooza nti abikola kufuna ky’ayagala adduke kumbe kyaliko akitegeeza.

Si muvubuka mugagga naye ku katono k’alina tandabyangako nnaku kuba ampa buli kye njagala ate abeerawo wonna we mmwagalira.

Bbebi kye nkusuubiza, omwaka 2019 gwange naawe era nze ηηenda okusinga okukwagala naye fuba okulaba nga si kusinga kuba wamanyiiza okujangala ennyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fire1 220x290

Obubenje bwatuze 32 mu wiikendi...

OMUWENDO gw’abantu abaafi­iridde mu bubenje obwaguddewo ku Ssande gulinnye nga baweze 32.

Aniteweb 220x290

Bamafia baagala kunzita - Anite...

MINISTA omubeezi avunaanyizibwa ku bamusiga nsimbi, Evelyn Anite avuddeyo n’alaajana ku bamafia abaagala okumutta,...

Isabirye1 220x290

Mzee Kifansalira owa NRM bamugoba...

KAKUYEGE wa NRM mu Bwaise, Isabirye Musa amanyiddwa nga “Kifansalira” asula ku tebuukye olwa landiroodi we okumulaalika...

Urawebnew 220x290

URA emalidde mu kyakutaano mu za...

URA FC ewangudde Wakiso Giants mu mpaka za Pilsner Super 8

Mustafi000 220x290

Mustafi wa Arsenal agenda

Roma eya Yitale, ye yagala okumuggya mu Arsenal