TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Esther weebale kumponya laavu y’abayaaye

Esther weebale kumponya laavu y’abayaaye

By Musasi wa Bukedde

Added 16th January 2019

NZE Henry Ssekabo, 26 nkola gwa busuubuzi nga mbeera Kawempe mu muluka gwa Bwaise II, Tebuyoleka Zooni.

Teba 703x422

Sejjusa myaka gye namala nga mbonaabona ne laavu y’abayaaye okutuusa bwe nafuna Esther eyamponya abayaaye.

Nze ne Esther twasisinkana mu March wa 2017 mu dduuka erimu eritunda engoye mu Kampala, ebiseera ebyo yali asoma S6 ku ssomero erimu. Yali azze kugula lugoye lwa kabaga akaggalawo omwaka.

Omukwano guno muzibu kuba olwatunuulira mwana muwala ono, omutima ne guntyemuka kumpi kaali kabonero ka laavu.

Ekifo we yali azze okugula olugoye nali ntera okubeerawo kuba nninawo mikwano gyange.

Namutunuulira ng’alabika talina kusalawo ku kika kya lugoye kye yali ayagala. Namusaba muyambeko okumulondera era eno ye yali entandikwa y’okufuna ekitangaala ky’omukwano.

Mu kunyumya nga bwe tulonda olugoye, namusaba ηηende ng’omugenyi we ku lunaku lw’akabaga kaabwe era n’akkiriza.

Ku lunaku lw’akabaga, namwatulira nti mmwagala era nakkiriza kuba naye yali alabika ng’ansiimye.

Twatandika okweyisa ng’abaagalaana kuba ffembi twali tusiimaganye. Abantu ab’enjawulo baamugamba bingi nga bwe siyisa sikaati n’ebirala wabula nga tabawuliriza.

Oluvannyuma lw’ebbanga, namutwala ne mwanjulira bazadde bange naye n’annyanjula ewaabwe era enjuyi zombi ne zisiima, awo ggiya kwe twali tutambulira n’erinnya.

Esther emyaka gy’alimu gya kivubuka, mwagalako kimu nti wadde mulungi ebitagambika, alina empisa, ampa ekitiibwa ate takkiriza binneeraliikiriza.

Mu kiseera kino alina kkoosi gy’asoma kuba mukazi mugezi ate ayagala okuvumbula ebintu by’aba tamanyi.

Omwaka 2019 twagenze okuguyingira ng’ali lubuto ekyanyongedde amaanyi okukola kuba nnina okukuuma famire yaffe nga nsanyufu.

Ndi mugumu nti omwana waffe ajja kumuzaala ekiseera bwe kinaatuuka kuba ayagala abaana.

Ndabika bulungi kuba Esther ampa emirembe era mwebaza okumponya laavu y’abayaaye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Gavumenti eremedde ku ky’okusiba...

Gavumenti eremedde ku ky’okusiba abali ku gw'okutemula Kaweesi

Fam2 220x290

Maama bamusse n’abaana be 3

Maama bamusse n’abaana be 3

Fut2 220x290

Teddy alaze ebyobugagga by’akoze...

Teddy alaze ebyobugagga by’akoze ne Bugingo

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...