TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Anoonya omuvubuka ali siriyaasi mu 2019 mwekeneenyeeko bino

Anoonya omuvubuka ali siriyaasi mu 2019 mwekeneenyeeko bino

By Musasi wa Bukedde

Added 16th January 2019

OMWAKA nga gutandika abaana abawala bangi basazeewo okukkakkana era bangi bayigga bavubuka batuufu. Ku bawala 10 boosanga 6 kubo ebiruubirirwa byabwe mu mwaka guno kuliko eky’okufuna omuvubuka omutuufu gwanaafumbirwa.

Gwa 703x422

Bano baabadde Kaliisizo nga banyumirwa emiziki.

Rebecca Naluyima omukugu mu nsonga z’abavubuka agamba nti emirundi mingi abawala batuuka mangu mu myaka gy’okusalawo okufuna ababeezi abenkalakkalira ekitali ku balenzi kuba bo balwawo.

Noolwekyo ng’abawala bwe batandika omwaka n’ekigendererwa ky’okunoonya abavububa abatuufu oba abali siriyaasi basaanye babekenneenyeeko ku bimu ku bino wammanga okwewala okumenyebwa emitima.

  1. Akutwala ng’ekisookerwako mu bulamu bwe. Omuvubuka yenna ssinga abeera mu bulamu bwo oba nga ku bintu by’atwala ng’ekikulu mu bulamu bwe okwata kya ku mwanjo weetaaga okumuteekako omutima nti yandibanga kyaliko akitegeeza era muwe obudde. Kino tekitegeeza nti agenda kuva ku birala by’akola adde mu kubiita ggwe.
  2. Afaayo nnyo okuzuula buli ekikukwatako. Omuvubuka ayagala omuwala ebya siriyaasi afaayo nnyo okulaba ng’amanya buli ekikukwatako nga n’emirundi egimu asobola okubuuza mikwano gyo. Kino tolina kukiyita lugezigezi wabula aba akwagalira ddala.
  3. Awuliriza ebirowoozo byo. Omukwano gwonna oguwangaala baguzimbira ku musingi gwa kuwaηηana kitiibwa. Omuvubuka ssinga aba afaayo okuwuliriza ebirowoozo byo n’abiwa ekitiibwa fuba okulabanga oteekayo omwoyo gy’ali yandibanga ky’aliko akitegeeza.
  4. Aba akweyabiza ate nga wa mazima gy’oli. Omuvubuka bw’aba asobola okwesiga omuwala n’abeera mwerufu ng’amweyabiza ate ng’ayogera mazima mu buli kimu kyeraga lwatu nti eby’omukwano byaliko kubanga omukwano ogunawangaala guzimbirwa ku bwesigwa.
  5. Atuukiriza ebisuubizo bye gy’oli era takumpanya mu njogera. Omuvubuka bw’aba ng’ali siriyaasi eri omuwala aba tayagala kumunyiiza era afuba okulaba ng’atuukiriza by’amusuubiza era tayogera bya bukuusa naye singa omuvubuka abeera akyusaakyusa ebisuubizo bye mugendekeko mpola.
  6. Aba ayagala osisinkane mikwano gye n’eηηanda ze. Omuvubuka bw’akwagala ebya siriyaasi afuba okulaba ng’osisinkana abantu be era anoonya engeri yonna gyemunaabeerawo mwenna ekiseera ekiwanvu kuba aba amanya ofuuse kitundu ku ye nga naye afuuse kitundu ku ggwe ekitegeeza emikwano ne ηηanda mulina kuba na beebamu.
  7. Afaayo okulaba nga munyumirwa bye bimu. Abantu nga baakwagalana ebyannamaddala ne bwe babanga ebibanyumira byawufu batuuka ekiseera ne bafaanaganya ebintu ebibanyumira. N’omuvubuka bwabanga ayagala omuwala ebitaliimu bukuusa era nga yeetaaga omukwano gwabwe gugende mu maaso asobola okulekayo ebimunyumira nga ye omuntu n’akola ebinyumira omuwala.
  8. Omutima gwo gukubuulira. Omuvubuka ali siriyaasi emirundi egimu oyinza n’okumuwulira mu mutima ne mu musaayi gwo nga gumusika era waatali okiraba naawe tobeerawo. 

Naye ssinga ofuna omuvubuka nga olaba okubeerawo kwe wooli tekulina kye kwongera ku ntambula ya musaayi gwo manya nti omukwano gwandiba nga tegujja kuba siriyaasi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...