TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Baze andekedde omwana gwe twazaala n’obulemu

Baze andekedde omwana gwe twazaala n’obulemu

By Musasi wa Bukedde

Added 17th January 2019

OMUSAJJA anziruseeko n’andekera omwana gwe twazaala ng’aliko obulemu ng’agamba nti ewaabwe tebazaala bali mu mbeera eyo.

Wine 703x422

Nze Jackline Namutebi 25, tubeera Nammere Zooni e Mpereerwe gye tumaze emyaka esatu ne baze. Era eno gye twazaalira omwana waffe kati ow’omwaka ogumu n’emyezi munaana.

Obufumbo buno mbubaddemu mu bugubi anti baze yanfuula kagoma.

Bwe nnafuna olubuto, nnalowooza nti osanga anaakendeeza kyokka yayongera bwongezi okunkuba n’okunsamba.

Bino byonna yabikola naye nga ntya okumuloopa kuba nnali mmwagala okukamala wadde nga baliraanwa bannemerangako muloope.

Omwana yazaalibwa bulungi mu ddwaaliro e Mulago kyokka nga talaba, amagumba ge nga manafu ne tumutambuza mu malwaliro ag’enjawulo nga tuli ffembi kyokka nga bwanangira nti ewaabwe tebazaala bikulekule.

Twamutwalako e Mengo, Mulago ne Cosu nga tebalaba bulwadde kati njagala kumutwala Katalemwa naye sinnafuna ssente.

Omusajja yatuuka ekiseera n’atabuka nti ewaabwe tebazaala baana bwebatyo.

Mu bbanga lye tumaze naye, nagenda ewaabwe ne ndabayo naye ewaffe talinyangayo era tebamumanyi.

Ankoze bungi naye ne ηηuma kubanga sirina mulimu y’aleeta ssente ng’avuga bodaboda.

Ku Mmande yankuba n’atuuka n’okwasa essimu yange era bwe nayagala okugimuggyako n’ayongera okunkuba era naddukira wa nnabakyala w’e Nammere Zooni.

Yanumbyeyo ankube kyokka n’amutangira ne bagenda ewa ssentebe w’ekyalo ng’agamba nti bwe nzira ewuwe ajja kuntuga okukkakkana nga nnabakyala ensonga azitutte ku poliisi y’e Nammere.

Baze olwategedde nti bamutwala ku poliisi n’adduka n’okutuusa kati tannaddamu kulabika.

Nsaba bazirakisa okunyamba era ndi ku ssimu, 0780246823. Njagala n’ekitongole ekiyinza okunyamba okulabirira omwana ono nsobole okutandika okukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...