TOP

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi

By Musasi wa Bukedde

Added 18th January 2019

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo era n’eragira nti mugende mu nsi muzaale mwale, kino kituufu nnyo. Nze Scovia Nakabugo. Mbeera mu Doobi Zooni ku Kaleerwe mu Makerere III.

Morning 703x422

Twasisinkana ne baze mu 2008. Nalina akazigo kange ke nneepangisiriza nga nkola mu kawooteri wabula mu kutambuza emmere baze weyandabira n’atandika okunkwana era awo we twatandikira omukwano gwaffe.

Nga tuli mu mukwano ogw’ekimemette baze yansaba tutandike okubeera ffembi bwentyo navaayo mu kazigo kange ne tutandika okubeera ffembi.

Nga wayise akaseera nafuna olubuto ne ntegeeza baze ekyamuwa essanyu kye nnali sisuubira era bwatyo Mukama n’atuwa ekirabo ky’omwana ow’obuwala.

Mu kiseera kino nga tuli mu ssanyu eppitirivu era twasigala tutambuza omukwano gwaffe newankubadde ssente tezaaliwo ennyingi naye nga tulina kye tulya.

Wabula oluvannyuma lw’ebanga baze yatandika okulumbibwa endwadde ezatandika okumubala embirizi.

Mu kusooka namujjanjaba nga ndowooza ajja kuba bulungi wabula ηηenda okulaba nga tewali kikyukako kyokka nga n’obusente bwonna bwe twalina buweddewo nga sikyalina kya kumujjanjabisa.

Nalaba embeera entabuseeko kwe kutegeeza ab’ewaabwe nabo abajja ne bamutwala mu kyalo basobole okumujjanjaba kuba nze nali nkomye.

Baze obulwadde bw’agenda mu maaso n’okumugonza era nga bwamulumira ddala ebbanga eriwera Awo ye yali entandikwa y’okweyombekera mu kazigo baze mwe yandeka anti bwe yagenda mu kyalo okumujjanjaba teyakomawo olw’embeera enzibu ey’ebyensimbi gye twalimu nga takyasobola kutulabirira nze n’omwana.

Oluvannyuma bajja ne batwala n’omwana wange olw’ensonga nti nange nali sikyalina busobozi bumulabirira bwentyo ne nsigala bw’omu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde...

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde

Kib2 220x290

Sipiika Kadaga azzeemu okukola...

Sipiika Kadaga azzeemu okukola emirimu gye

Sab2 220x290

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa...

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Gab2 220x290

Ebya dokita gwe basse bikyalanda...

Ebya dokita gwe basse bikyalanda