TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Bwe nagaana okuggyamu olubuto omusajja n’atandika okweyisa obubi

Bwe nagaana okuggyamu olubuto omusajja n’atandika okweyisa obubi

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd January 2019

NZE Jane Zawedde 37, mbeera mu Dobbi zooni Kalerwe mu Makerere III. Twasisinkana ne baze mu 1993.

United 703x422

Nali njokya kasooli ku Kalerwe nga neepangisiza akazigo ate nga ye atunda matooke.

Ssente bwe zaagaananga ng’ampa emmere ey’obwereere naye nga neebuuza lwaki agimpa.

Nga wayise ebbanga, baze yatandika okulaga ebikolwa ebiraga nti anjagala naye nga tayatula.

Wabula mu mbeera eyo nange nali ntandise okumwagala naye okusinziira ku bintu bye yali ankolera era nga ninda ayogere kigambo nti, ‘nkwagala’. Mu bbanga ttono yakyatula era nange ne nzikiriza.

Yansaba tutandike ne nzikiriza kubanga n’ennyumba yali enzibuwalira okupangisa. Twatandika obufumbo era ng’ennyumba y’agisasula.

Nafuna olubuto olwasooka era munnange yasanyuka nnyo kye nnali sisuubira.

Yandabirira n’olubuto okutuusa bwe nazaala ng’obufumbo bwaffe tubutambuliza ddala bulungi.

Wabula bwe nafuna olubuto oluddako, bwe nategeeza baze kyambuukako bwe yandagira okuluggyamu ne ntadika okwebuuza baze ekyamutuukako.

Ng’omukyala natandika okunoonyereza obuzibu we buva obwakyusa baze mu mpisa.

Nasooka kulowooza nti osanga alinayo omukazi omulala naye si bwe kyali.

Wabula nazuula ng’alina ekibinja ky’abavubuka b’akolagana nabo ate nga si bamyaka gye.

Baze yakoppa emize gyabwe gyonna n’atandika n’okunywa omwenge gwe yali tanywa era ng’abavubuka be bamuwa n’amagezi kuki ky’alina okukola.

Kyokka nga bw’akomawo awaka adda atamidde n’atandika okunkuba nga bw’aηηamba nti mikwano gye gimugambye angobe nti nkaddiye bagenda kumufunirayo omulala omuto.

Nasooka ne ngumira embeera naye nagenda okulaba ng’abavubuka nabo baagala kutandika kuneefunira.

Nga bwe banywa omwenge ne baze nga bajja awaka nga bonna baagala kunkozesa kw’ossa n’okunkuba ensambaggere nga bwe baηηamba nkaddiye munnaabwe bagenda kumufunirayo omuto Olw’embeera eyo nalemererwa ne nsalawo okwawukana ne baze kuba emirembe gyali gimpeddeko.

Naddamu okwepangisiza wabula ng’obulamu bwayongera kukaluba kuba abaana yabansuulira nga n’okutuusa kati simanyi gy’ali wadde okumuwulisza.

Nsaba omuzirakisa annyambe kuba abaana bange bato tebasoma ng’obusobozi sirina nga n’ekyokulya sikirina (075514381).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...