TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okufumbirwa atali Muganda tekikuwa bbeetu kusuula buwangwa bwaffe

Okufumbirwa atali Muganda tekikuwa bbeetu kusuula buwangwa bwaffe

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd January 2019

MWANA wange kulika embaga era weebale kutuweesa kitiibwa. Naye natidde bwe nakyadde awaka nga kirabika empisa ez‛ewaffe ozeerabidde.

Ssenga1 703x422

Mwana wange newankubadde omusajja gw‛ofunye si Muganda naye waliyo ebintu by‛otolina kubuusa maaso.

Kigambo kufukamira ng‛obuuza nnyazaala wo oba ssezaala wo kiraga ekitiibwa ky‛owa omuntu oyo.

Eggwanga ly‛ogenzeemu tebafukamira naye olina okusigala ng‛ofukamira. Okubuuza ssezaala nga weesimbye si kya buntubulamu. Ggwe naawe towulira nga ky‛okola kikyamu.

N‛ekirala omwami oyo oba omukyala oyo bw‛akulaba ng‛eggwanga lyo tolissaamu kitiibwa naye akulaba bulala. Abazadde abazaala omwami waffe olina okubassaamu ekitiibwa.

Abaana boogenda okuzaala bagenda kubeera ba ggwanga lya mwami waffe era olina okufuba okulaba ng‛obayigiriza obulombolombo bw‛eggwanga lyabwe.

Omwamiwo agenda kukuyambako era n‛abazadde abazaala omwami waffe. Naye tekitegeeza nti ggwe wakyuka toli Muganda.

Olina okusigaza ekifaananyi eky‛Abaganda mu maka ago. Naye tolina kukuliriza Buganda kubanga basobola okukulaba obulala.

Kaakati wafuuka mwana ewaabwe naye osigala ng‛oli Muganda. Mwana wange tosuula obuwangwa kubanga bw‛okola ekyo kitegeeza nti togenda kujjanga ku lumbe.

Omwami waffe yategeera nti oli Muganda era n‛asalwo akutwale era akimanyi nti alina by‛agenda okuyiga ewaffe ate naawe oyige ewaabwe naye omuzadde asigala muzadde. Toddamu okwesimba ku nnyazaala oba ssezaala wo.

Abo bazadde ate manya nti olina okuwa mukulu munnaffe omusajja ekitiibwa ky‛asaanira ng‛omanyi nti abeera muko gy‛oli.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.