TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyambudaabuda nga nfi iriddwa baze yandekamu looko

Eyambudaabuda nga nfi iriddwa baze yandekamu looko

By Musasi wa Bukedde

Added 26th January 2019

NZE Mary Abe 32, mbeera Mutungo. Omuvubuka gwe nnafuna oluvannyuma lw’okufi irwa baze yambikka ekkwaano eryali linneerabizza ennaku y’obwannamwandu bwe yanjagalira abaana bange.

Ketha 703x422

NZE Mary Abe 32, mbeera Mutungo. Omuvubuka gwe nnafuna oluvannyuma lw’okufi irwa baze yambikka ekkwaano eryali linneerabizza ennaku y’obwannamwandu bwe yanjagalira abaana bange.

Nga baze amaze okufa, waayita ebbanga ddene nga eby’omukwano mbiwummudde olw’ebirowoozo ebingi bye nnafuna olw’embeera eyali entuuseeko.

Wabula oluvannyuma lw’ebbanga, nnali ηηenze kufuna okubudaabudibwa okuva mu mikwano gyange, mukwano gwange, omu n’ampa amagezi okukomya okwekubagiza nsobole okwerabira baze n’okutambuza obulamu obupya nsobole okulabirira abaana nange abasatu be nnali nsigazizza.

Akawungeezi akamu, mukwano gwange ono yannona awaka n’antwalako mu kifo ekimu ekisanyukirwamu e Kitintale ng’ayagala okunsanyusaamu nsobole okwerabira baze.

Tuba tutudde twewamu, ne wabaawo omuvubuka eyajja we twali n’atubuuzaako era n’atweyanjulira nga ye Denis naye bwe nawulira eddoboozi wamma n’ankubirawo.

Yatuula we twali era awo emboozi n’egwa amakerenda okukkakkana ng’ansabye akanamba kange ak’essimu era nange ne nkamuwa.

Denis, yatandika okunkubira essimu era n’antegeeza nga bwe yali ansiimye era nange ne mmutegeeza nti nali mmusiimye naye nali nkyalina ebiwundu by’okufiira omwami wange ng’ate nnina n’okunoonya ssente z’okulabirira abaana bange abasatu, kale nneetaaga omuntu ng’ali siriyaasi atammenye mutima.

Denis yantegeeza nti eky’okufi irwa baze si nsonga era n’abaana bange tabalinaako buzibu kubanga ye yali ansiimye ng’omuntu.

Yansuubiza nti ajja kufuba okulaba nga tubeerawo n’ako akatono k’afuna. Olw’okuba nnali mpise mu kusoomoozebwa, omuvubuka ono namuwa omutima gwange era ne mmwesiga olw’engeri ennungi gye yampisanga n’abaana bange.

Denis yandaga ekkwaano ng’ayogera kimu bibiri ekyokusatu nga baana, nange ne mmwagalira ddala kuba yali atufaako nga n’abaana abamwagala. Denis yandaga obwesimbu era olwali okufuna omulimu ne bamusasula, yaηηamba nnoonye ennyumba ennungi ng’erimu buli kimu nange mbeeko mu bulamu obwesiimisa kubanga akayumba ke twalimu kaali kabi.

Denis yampangisiza ennyumba ya 250,000/- era n’anteeramu kalonda w’omu nnyumba yenna ne mpona ennaku y’obwannamwandu kuba nali nsula mu ka yumba ka 50,000/-.

Ebbanga lye nnamala naye, sirina muze gwe nnamusangamu kuba teyankalubiriza mu kintu kyonna era nga tuteesa.

Ekyanzigya enviiri ku mutwe ye Denis okumala ebbanga nga tampuliza nga n’awaka takyalabikawo, ne bwe nnagezangako okumukubira amasimu nga takwata n’okutuusa kati simanyi kyakyusa birowoozo bye kundekawo.

Nsaba omuntu yenna asoma emboozi yange ampe ku magezi kubanga omuvubuka ye nali mmwagadde naye simanyi kyamuddusa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bim1 220x290

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka...

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka z'obubina

Lop1 220x290

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba...

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Kis1 220x290

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo gutambula bulungi

Sarangabaagaembuzinekikondekyekunokwebayitaokugikubaekikondeweb 220x290

Ntunda mitwe gya mbuzi okuweerera...

Emitwe gy'embuzi gye nsasulwa mu kuzibaaga mwe mpeeredde abaana n'okwongerako emirimu emirala.

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...