TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Lwaki ovuma maama w’abaana n’ogattako n’okumuwemula?

Lwaki ovuma maama w’abaana n’ogattako n’okumuwemula?

By Musasi wa Bukedde

Added 29th January 2019

BANGAMBYE nti oli muvumi muzibu. Ovuma mukyalawo, abaana kati bakudduka ate oyomba bulala. Kyewuunyisa ovuma n‛ebigambo ebitalina kuva mu kamwa ng‛oteeseeko n‛okuwemula. Mwana wange amaka ogafudde ki?

Situla 703x422

Gw‛olina okulaba ng‛amaka go ogawa ekitiibwa. Ate ne muwala waffe omuvumira mu bantu.

Mwana wange oba tomanyi okuvuma ku mulembe guno kiraga omuntu atalina buvunaanyizibwa. Ate n‛ekirala okuvuma omukyalwo ate nga n‛abantu bawulira kibi nnyo.

Kubanga weebuuze ssinga bavuma ggwe? Ate lwaki owemula, ddala gwe olaba nga kirungi?

Abaana bo bawulira ebigambo ebiva mu kamwako era ndowooza beebuuza ddala ono ye kitaffe ayogera bw‛ati. Ate oba tomanyi abaana abo kati obayigiriza emize era nabo bwe batandika okuvuma oba okuwemula teweebuuza gye kivudde.

Amaka agalimu ekitiibwa abakulu tebavuma era tebawemula. Era n‛abaana tebasobola kuvuma kubanga tebalina gwe bayigirako okuvuma.

Kale mwana wange eby‛okuvuma biveeko era n‛okuwemula. N‛ekirala muwala waffe mbadde ndowooza nti muntu mukulu nga ggwe era newankubadde mukyala olina okumussaamu ekitiibwa.

Buli ky‛okola muwala waffe weebuuze ssinga naye akikukoze owulira otya? Okuvumira omuntu mu bantu kibi nnyo.

Omuntu oyo oba omukoze bubi nnyo. Naye ate teebereza omuntu ono gw‛ovuma ye maama w‛abaana bo. N‛omuvuma obusiru ate nga wamuzaalamu abaana nze ndaba nga naawe oba ofuuse musiru.

Okuvuma kuswaza ggwe nga nnannyini maka ate oba oyigiriza baana bo emize.

Oba munno alina ky‛akoze nga si kirungi mugambeko bulungi nga bw‛olina okukola kubanga ono mukulu munno. Okuvuma n‛okuwemula olina okubikomya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.