TOP

Fumbira omwami wo onyweze obufumbo

By Musasi wa Bukedde

Added 29th January 2019

WEEBALE gy‛okola era mwebale okuzimba ennyumba. Nabaddeko ewammwe naye omwami waffe nawulidde agamba nti oluusi ofumba ate oluusi oleeta ‘take away‛. Nti wamugamba nti okoowa okufumba buli lunaku.

Ssenga1 703x422

Eeeh mwana wange ng‛otandise bubi! Kati oli mu mwaka gumu mu bufumbo olwo bw‛onooweza emyaka etaano mugenda kulya mu ‘take away‛ togenda kufumba mmere waka?

Jjukira nti ogenda kuzaala, ogenda kukyaza era emirimu girina okweyongera.

Omusajja yenna alina okulya emmere awaka. Ate kikola bulungi ggwe omukyala okufumba emmere eyo. Sigaanyi okola naye singa ofumba enva ate omukozi n‛omulekera emmere.

N‛ekirala ku Lwomukagga oba Ssande fumbira omwamiwo emmere. Nze mbeewuunya baana bange ne Nasozi bw‛atyo bwe yafi irwa omwami we.

Mwagala obufumbo naye bwe mubufuna nga mutandika okubuzannyiramu. Emmere eya ‘take away‛ ya bawuulu so si bafumbo. Ate emmere eyo ebiseera ebisinga ebeeramu amasavu oba butto mungi.

Bw‛ofumba emmere awaka nga ggwe omufumbi omulungi omanya ky‛okola okulaba ng‛omwami wo era n‛amaka go balya emmere ey‛omugaso. Abantu bangi bafunye endwadde lwa kulya ‘take away;‛.

Ate mwana wange oli mufumbi mulungi era osobola okukuumira omwami wo awaka olw‛emmere ennungi. Olina okufumba buli lunaku.

Abasajja abamu banoonya emmere ennugi naye ebivaamu kufuna bakyala abafumbi. Ggwe nga bakwerabira anti oli mu ‘take away‛. Fumba onyweze amaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bim1 220x290

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka...

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka z'obubina

Lop1 220x290

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba...

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Kis1 220x290

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo gutambula bulungi

Sarangabaagaembuzinekikondekyekunokwebayitaokugikubaekikondeweb 220x290

Ntunda mitwe gya mbuzi okuweerera...

Emitwe gy'embuzi gye nsasulwa mu kuzibaaga mwe mpeeredde abaana n'okwongerako emirimu emirala.

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...