Mwana wange buli ggwanga n’ebyayo. Eriyo amawanga nga tebayimba. Ate oluusi omuntu yennyini ayinza okuba nga kigambo kuyimba akyewala kale n’asalawo okusirika newankubadde obuwoomi abuwulira era n’obwagazi abulina.
Ekireeta kino oluusi ennyumba ze tusulamu nga mukyala wo tayagala baana wadde abapangisa abalala okuwulira ekiri mu maka ge.
Ate nga kino kituufu ddala kubanga oluusi abaana basobola n’okutandika okuyiga empisa embi mu ngeri eno.
N’ekirala, ng’omuzadde kiswaza abaana okuwulira ebigenda mu maaso. Ate mwana wange okuyimba si kye kisinga obukulu wabula obwagazi wakati wammwe era n’embeera ey’essanyu gye mubeeramu.
Ate oba Munnakenya, eggwanga ly’avaamu bayinza okuba nga tebayimba, kati mwana wange kino kyesonyiwe.
Obuwangwa busigala nga buwangwa era oluusi kizibu okukyusa omuntu mu buwangwa. Ekirungi afuna obwagazi era n’amazzi ogalaba kino kye kisinga obukulu.
Abakyala bangi abayimba naye nga tebafuna bwagazi era nga babeera bakalu ddala. Bakikwata nti olina okuyimba oba ofunye obwagazi oba tofunye.
Kale oluusi n’abasajja ne balowooza nti ddala omukyala afunye essanyu. N’ekirala oba tasobola kuyimba waakiri yogera naye akubuulire ebimusanyusa mu kwegatta.