TOP

Munno tomugobaako mikwano gye

By Musasi wa Bukedde

Added 29th January 2019

MUKYALA WO bw’omugobako mikwano gye munnange ofiirwa ebirungo. Kubanga eddagala ly’amaka amalungi erisinga obukulu kuba kwebuuza ku banno.

Funa1 703x422

Ate ng’amagezi mukyalawo agaggya mu mikwano gye egyo ggwe gy’omugobako. Buli mukwano ogweyongera ku maka guba gwa mugaso.

Kubanga mukyala wo bw’aba nga wa mpisa era nga kye wava omulonda manya nti alonda emikwano emirungi.

Kati nga mu kiseera kino eky’okunoonya ebifo by’abaana, waakugambira nga mukyala w’omukulu w’essomero gye mwagala okutwala omwana mukwano gwe.

Nga ne ffiizi ajja kwogera ne mukyala munne babakkirize okusasula ebitundutundu. Awo waba wabi?

Ate era eyo mu banne gy’asaka ebirungo by’ayongera mu mukwano amaka ne gatinta. Kubanga bo abakazi banguwa okunyumiza ku bannaabwe bye bayitamu, ne bawaηηana amagezi.

Abamu bayigiriza bannaabwe okufumba, oli n’agamba banne nti ye tamanyi bwe bafumba bummonde buzungu. Banne ne bamuyamba. Era amagezi ge bawaηηana gatuukira ddala ne ku nsonga z’omu kisenge.

Mpozzi omusajja ky’oyinza okwemulugunyaako ze ssaawa z’asisinkana mikwano gye.

Bwe ziba nga ziyitawo ne zituuka mu ttumbi oba nga zirina engeri gye zikukosaamu. Naye okulowooza nti buli omukazi lw’abeera ne banne, aba ali mu bwenzi si kituufu.

Kubanga lwaki ggwe oyo gwe walondayo omulowooleza okuba nti ye buli kiseera anoonya bamukwana? Obwo buba buteekakasa nga ggwe omusajja.

Waliwo embeera ezijja mu maka nga mpya mu bulamu bwammwe, nga zeetaaga okwewuunaganyaamu ne banne bamuwe amagezi. Era nga mmwe abasajja bwe muba ne bannammwe eyo gye mulabira emipiira.

Ne mukomawo nga situleesi zibaweddeko. Ne munno omukazi yeetaaga ebiseera nga bino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde...

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde

Kib2 220x290

Sipiika Kadaga azzeemu okukola...

Sipiika Kadaga azzeemu okukola emirimu gye

Sab2 220x290

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa...

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Gab2 220x290

Ebya dokita gwe basse bikyalanda...

Ebya dokita gwe basse bikyalanda