TOP

Favourite kya bugagga kyange

By Musasi wa Bukedde

Added 30th January 2019

FAVOURITE nakamala naye kati omwaka mulamba nga tulabagana naye ebbanga lye maze naye kye nasubwa simanyi na kumanya Nze Fahad Matovu 25, mbeera Nakulabye.

Pampa 703x422

Nasisinkana Favourite oluvannyuma lw’okumala ebbanga nga sirina ssanyu mu mukwano kuba be nafunanga nga tebamanyi kye baagala. Ate abalala ng’akwagala alina ky’akusuubiramu.

Natandika okwogera naye ng’ali Kenya naye nga nze ndi mu Uganda naye ng’ekitugatta mirimu. Yali akolaganika naye, mwerufu, afaayo ate ng’atuukiriza ky’aba yeeyamye.

Lumu tuba twogera ne mwebaza okubeera omwesimbu era nti omusajja amwagala amwenyumirizaamu, era wano we yantegeereza nga ye bw’atalina musajja.

Ekirowoozo kyakyukirawo ne mmanya nti ebyange biteredde era wano we natandikira okulaga omukwano gwange gyali.

Era ekyannyamba, okusaba kwange teyakugoba. Okuva bwe nasalawo afuuke munnange, buli kimu kyakyuka.

Bwe yakomawo mu Uganda, twasisinkana enfunda eziwera naye nga buli bwe tutuuka okusasula bbiru gye tuba tulidde, nga tayagala nsasule nzekka era nga waakiri tusasulira wakati ekitali ku bawala balala.

Nasooka ne ndowooza nti osanga yali ampisaamu maaso okutuusa bwe namubuuza lwaki yali akikola kwe kuηηamba nti, omuntu yenna omutuufu tolina kulekera munno kwettika mugugu bw’omu wabula mulina kukwasiza wamu.

Kino kyampa ekifaananyi ekirala mwe nnina okuteeka Favourite era amaanyi nagongeramu okulaba nga muwangula era nga nkola by’ayagala.

Ekiri wakati wange ne Favourite bakiyita laavu kuba anjagala ebiriyo ate ng’alina empisa.

Nange mmwagala era kye mmanyi nti ebiseera byaffe mu maaso bitangaavu.

Favourite nkusuubiza okukwagala nga bw’onjagala okutuusa okufa bwe kulitwawukanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde...

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde

Kib2 220x290

Sipiika Kadaga azzeemu okukola...

Sipiika Kadaga azzeemu okukola emirimu gye

Sab2 220x290

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa...

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka

Gab2 220x290

Ebya dokita gwe basse bikyalanda...

Ebya dokita gwe basse bikyalanda