TOP

Ssaalongo anjabulidde

By Musasi wa Bukedde

Added 31st January 2019

“SSAAYAGADDE kuzaala mulongo aliko bulemu kyokka Ssaalongo andese mu matigga. Alinga anvunaana nti bwe nnagenze gye bagula abalongo nnaguzeeyo ataamusanyusizza”.

Luzu 703x422

Nze Nnaalongo Olivia Namukubembe 30. Mu August w’omwaka oguwedde Mukama yampa abalongo be nasooka okuyita ekirabo naye ate kinfuukidde ekizibu.

Baze olwategedde nti omulongo omu aliko obulemu yadduse buddusi n’andeka mu bbanga n’okutuusa kati simanyi gy’ali.

Wasswa ne Nakato nabazaalira mu ddwaaliro e Mulago nga babulako ennaku okuzaalibwa ne babikkibwa ne bavaamu bulungi. Abasawo tebaamanya nti Wasswa aliko obulemu.

Nnakitegeerera waka nti Wasswa yalina ebitundu by’ekyama bibiri (eky’obusajja n’obukazi).

Yali afuuyisa ne mwetegereza ng’omusulo gufulumira wansi awatali busajja. Era bwe nneetegereza ebitundu bya Wasswa w’afukira ne ndaba ng’akatuli omwandiyise omusulo tekaliiko.

Bwe nnamuzzaayo mu ddwaaliro e Mulago abasawo ne bantegeeza nti omwana okulongoosebwa kyetaagisa 3,000,000/-.

Nagenda okuva mu ddwaaliro ng’asibyemu ebibye byonna era okuva olwo essimu yagijjako.

Natuuka okulowooza nti osanga yafuna ekizibu kyokka bwe nnabuuza banne bantegeeza nti gy’ali era yabategeeza bw’atayinza kwesembereza balwadde.

Omwami ono okunkwana yansanga mu katale k’e Nakasero gye nnali ntambuza emmere okuva mu wooteeri emu mu 2016 nga ye akolera mu kkampuni emu eya sooda.

Yantegeeza bwe nnali mulabikidde obulungi nti era yali amaliridde okubeera nange mu bufumbo.

Nnali neempangisiriza omuzigo e Nabisaalu mu Makindye lwakuba ono nasooka kumukisa gye nnali mbeera kuba abasajja baali bannimbyerimbye ekimala ng’amala okukukwabula ate n’akuddukako.

Okulaga Musisi gye nsula yasooka kunkakasa nti yali wakubeera nange mu bulungi ne mu bubi n’atuuka n’okwettikka engoye ze n’azireeta gye nnali nkolera okunkakasa nti twali baakubeera ffembi.

Bwe yandekedde abalongo we nategeeredde nti yalina omukyala omulala eyali tamuwa mirembe era kye kyamuleeta mu muzigo gwange.

Abasawo bagamba nti ekizibu kino nnina okukikolako mu bwangu nga tekinasingawo kuba kati Wasswa yeetakula wansi nga bw’akaaba mu bulumi.

Waliwo muzirakisa eyantwala ewa maama wa baze (nnyazaala wange) e Kasambya mu Mawokota gye mbeera naye n’omukadde talina ssente.

Nsaba abazirakisa bannyambe ntwale Wasswa mu ddwaaliro. Ndi ku ssimu, 0756498373.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...

Langa 220x290

Owange mmuweweeta ku katto k’abakyala...

SHARON Arinitwe w’e Kosovo: Owange mmukwata mu matu n’okuweeweeta ku mutwe gwa mutaka nga bwe mmukomberera okuva...

Bano 220x290

Ebifo ebiterese obuswandi bw’abasajja...

OBADDE okimanyi nti omusajja yenna yeetaaga okukwata mu ngeri ey’enjawulo nga muli mu buliri okusobola okuwangaala...

Segawa1 220x290

Ssegawa gwe yalonda mu bakazi 50...

OMUYIMBI Vincent Ssegawa atabuse n’omukazi gwe yakozesa yintavuyu n’asinga abalala 50 mwe yamulonda.

Abamerika bakubye Trump mu mbuga...

ABAKULEMBEZE b’amasaza g’America 16 bawawaabidde Pulezidenti Donald Trump nga bamulumiriza okwagala okukozesa obubi...