TOP

Taata w’omwana ansaba ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 31st January 2019

NALINA omusajja n’andekawo nga ndi nnakawere wa mwezi gumu. Yandeka mu nnyumba bw’omu era nasala amagezi okulaba nga nsasula ennyumba, nkuze omwana n’okubeerawo. Nasalawo okutwala omwana ewa maama nsobole okukola. Kati nagula puloti omwana wange akuze era yatandika n’okusoma. Kati omusajja ayagala muwole ssente. Buli muntu agamba nti simuwola naye ate ye taata w’omwana wange. Ssenga nkoze ntya?

Ssenga1 703x422

OMUSAJJA ono olabika okyamwagala naye okukulekawo kiraga nti yali takwagala.

Era yakuleka mu mbeera embi ng’oli nnakawere ne weefaako n’osobola okubeera obulungi. Kati olina okwebuuza ebbanga eryo lyonna omusajja ono abadde wa?. Kati alaba olina ssente ate ng’amanyi nti wali okyamwagala akukozesa okumala ebizibu bye.

Okugyako ng’oyagala kumuwa ssente naye tekitegeeza nti agenda kuddamu akwagale era olina okukimanya.
 
Ennaku zino waliyo abasajja abakuula era saagala mukwano kuguteeka mu ssente zo mpozzi ng’ozimuwa buwi. Naye ddala ssente ezo tosobola kuzikolamu kirala ng’okuweerera omwana wo?
 
Jjukira ne poloti toonagizimbamu. Simanyi lwaki oyagala okwonoonera ssente zo ku musajja eyakulekerera?
 
Wadde ye taata w’omwana naye tekitegeeza nti alina okukujooga. N’ekirala waliyo abasajja oba abantu nga tebaagaliza era nga bw’alaba omuntu ng’ali bulungi kimuluma era n’anoonya engeri gy’asobola okukosa obulamu bwo.
 
Omuntu ono mwegendereze kuba ssinga abadde ayagala muddiηηane, ekyo kyandibadde kirala naye ono akwagalako ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsalo 220x290

Lwaki Uganda eggaddewo emikutu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku kukuuma omutindo gw’ebiweerezebwa ku mpewo ekya UCC kiggadde emikutu gy’amawulire...

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera