TOP

Ayagala ag'emugga mangi

By Musasi wa Bukedde

Added 20th February 2019

Omwami wange ayagala ag'emugga agasammuka naye ngenda kugaggya wa?

Cartoonmazzi1 703x422

Njagala g'emugga

Nze Hawah Nantongo, omwami wange ayagala ag’emugga mangi agasamukka naye nze hhenda kugaggya wa?

Era weebuuze ogenda kugaggya wa? Kubanga mwana wange buli mukyala wa njawulo ku g’emugga g’alina.

Waliyo abalina amangi ate ng’abalala n’ensulo endala zigaleeta. Newankubadde buli mukyala asobola okufuna obwagazi era n’aleeta amazzi naye agasammuka abakyala batono abagalina.

N’ekirala amazzi g’oleeta oluusi kiva ku bwagazi bw’ofunye mu kiseera ekyo. N’ekirala bw’ogenda okula, obwagazi bukendeera kale n’amazzi agakuvaamu nago gakendeera. Ate abasajja balina okukitegeera nti singa munno omuteeka ku puleesa y’amazzi amangi nga mu butonde alina matono, n’amatono g’alina gasobola okubula.

Kubanga Nantongo agenda okwegatta nga yeeraliikirira amazzi kale omutima n’obwongo tebibeera wamu era ekiddirira butafuna bwagazi. N’ekirala gwe ng’omusajja era olina obuvunaanyizibwa okulaba nga munno afuna amazzi g’oyagala.

Kino okikola ng’omunoonya bulungi era ng’ofuba okulaba ng’afuna essanyu. Kitegeeza olina okutwala obudde okulaba nga weetegereza omubiri gwe omanye ebimusanyusa.
kiki ekimusanyusa.

Era kyekimu omukyala okuteeka omusajja ku plueeesa nga omugamab nti alina okwegata naawe emirundi mingi naaye nga munno tasoboola.

Kaale mwana wange puleesa teyetagisa mukwegata oba okuuwa munno amateeka naaye nga mateeka gomuuwa gabutonde nga kizibu okukyusamu. Natongo munno muuwe okudibwamu kunno nsubira anategeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...