TOP

Nneenyooma mu sayizi

By Musasi wa Bukedde

Added 20th February 2019

Obusajja bwange butono, nsobola okubwongerako?

Ndi musajja naye nneenyooma mu sayizi y’obusajja bwange. Nsobola okubwongerako?

Mwana wange weenyooma mu sayizi? Lwaki weenyooma? Olina sayizi z’olabyeko nga nnene okukusinga? Era nneebuuza sayizi zino ozirabye otya? Kubanga oyinza okuba nga sayizi gy’olaba y’eyo nga tonnaba kufuna bwagazi.

Naye ate nga bw’ofuna obwagazi sayizi y’eyo ddala. N’ekirala abasajja bangi ennaku zino balaba ebifaananyi eby’obuseegu ne balowooza nti ddala sayizi entuufu y’eyo gye balaba.

Ne batamanya nti sayizi ezo ze balaba balina engeri gye bazifuula nga nnene mu kifaananyi naye nga mu butuufu si nnene. N’ekirala mwana wange sayizi si kye kisinga obukulu, wabula engeri gy’osobola okukozesa sayizi eyo.

Bw’obeera ne sayizi entono abakyala baagala kuwulira kale olina okugezaako okulaba nga weewala obutabeera munda.

Ate kigambo kukyusa sayizi simanyi lwaki mwakiremerako kubanga wano ewaffe mu Uganda ‘plastic surgery’ ow’obusajja taliiwo. Kati abagamba nti bakyusa sayizi mu butuufu balimba okuggyako nga bakutwala bweru wa Uganda.

N’ekirala ssinga ebirowoozo bya sayizi  bikumalamu, weesanga nga n’okwegatta kukulema anti mu kifo ky’okwegatta n’amaanyi gabula ng’ebirowoozo biri ku sayizi.

Okwongerako osobola naye ng’ogenze bweru wa Uganda naye si wano. Naye weebuuze ddala sayizi ntono? Oba okirowooza bulowooza?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...