TOP

Komya okutijja ne muka neyiba

By Musasi wa Bukedde

Added 20th February 2019

Muka neyiba omunyumiza mboozi ki ezo ezimutuusa okuyitanga erinnya lyo buli lwakuba emyasi?

Coupleblack11 703x422

Bali mu mukwano

Muka neyiba omunyumiza mboozi ki ezo ezimutuusa okuyitanga erinnya lyo buli lwakuba emyasi?

Kino kiva ku musajja ggwe okweyabiza abakyala ab’ebbali okusinga owuwo. Ne bwe biba bikujjuko ogenda ne muka neyiba nga owuwo oluusi tategedde. Ate n’otuuka eyo n’omulaga laavu wamma n’abalabi ne bamwesiimisa.

Osooka ku musimba lupiiya nti ateekeko mu nsawo.  Ate ebyokulya n’okunywa nabyo n’obimubikka nga ggwe osasula. Buli akanyuma n’okamulaga nga ye atakalaba. Kyokka nga bw’oba wayise na weewuwo otuggubala ng’eyakuvumye edda.
Leero bw’oba olina ekidduka ku kyalo, n’omuvuga n’omutwala gy’ayagala awatali na kubalirira nti ekidduka kinywa amafuta. Kyokka ng’owewuwo ne bw’akusaba 1,000/- olwa bodaboda omutegeeza bw’otolina ssente.

Neyiba akanya kukuweereza mesegi nga bwe banaalaba n’abalina ebidduka kyokka nga ggwe ate okanya kuziraga mukyala we (Mukyala neyiba) ng’omutendera ng’abantu  bwe balowooza obulala ku nkolagana yammwe! N’olandukira wo n’omugeyera n’ebifa ku mukyala wo ow’eka!

Ye nno ewaabwe wa muka neyiba bwe wabaayo omukolo (ne bwe kuba kufiirwa) ne weetala nga namunye omunyageko ente. N’omuwa ssente ezinaagulira abagenyi bye banaalya, entambula y’abanaagenda ate n’otuuka neri gye mulaze n’ojula okuggyamu essaati oyase enku akulabire ddala nti emikolo ogyenyigiddemu butereevu.

Akasimu okumubuuza bw’ali okakuba buli kaseera. Kyokka ng’owewuwo ne bwakukubira essimu oddamu na kkabyo n’omubuuza lwaki akutawaanya?
Ekinaava mu kino ye mukyala neyiba okutandikanga okulayira erinnya lyo buli lw’atema emyasi, era na buli lw’ayasa ebikopo okutuusa lw’alibimala mu kkabada.

Awo we waliva akabaate bba yeekyawe ebirivaamu.....
Ate naawe ng’oluusi okizudde nti ssinga n’owewuwo omuyisa nga mukyala neyiba yandibadde ‘Kyasi” kya mukazi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...