TOP

Ekisenge tokisuulirira mu buyonjo

By Musasi wa Bukedde

Added 27th February 2019

Nabaddeko ewuwo naye lwaki engoye ozimansamansa buli wamu, naddala mu kisenge? Obuyonjo tebulina kukoma mu ddiiro.

Mwana wange weebale emirimu era nasanyuka bwe namanya nti kati obufumbo obukutte bulungi. Naye ate waliyo akabulamu nga nako njagala okakole obufumbo butereere. Ekisenge kyo nakirabye naye tekyandabikidde bulungi. Kubanga engoye nazirabye nga buli w’okuba eriiso olaba ngoye. Ekinaabiro kyansobedde nga kirabika tokiyonja.

Mwana wange obuyonjo tebulina kubeera mu ddiiro, mu kiyungu ate ekisenge kyammwe n’okyerabira. Omukyala yenna alina okubeera omuyonjo mu nnyumba yonna. Oba tokimanyi omusajja oluusi ayinza obutafuna bwagazi olw’obucaafu bw’ekisenge.

Ekisenge nakyo kifeeko,tolina kubeera muyonjo lwa bagenyi bokka, olina okubeera omuyonjo kubanga naawe oyagala okubeera omuyonjo. Naye kati ndaba ng’ofaayo nnyo okubeera omuyonjo mu bifo by’omanyi nti abagenyi batuukawo. Kati mwana wange omusulo okuwunya mu kinaabiro kyammwe oba mu kisenge kyammwe ate nga temulina mwana muto asula mu kisenge kyammwe nze ndaba nga kigenze wala.

Ekiyigo kyammwe mukifuuyisaamu ate nga mulina toyireeti enzungu  mu kisenge? Omanyi abantu bangi balina omuze ogwokufuuyisa nga banaaba, ne batamanya nti omuze guno guleetera ekinaabiro okuwunya. Ate ky’olina okukola kwe kulaba ng’ekiyigo okyoza buli lunaku olwo omusulo tegusobola kuwunya.

N’ekirala nasobeddwa engoye nga ziri buli wamu. Olina okufuna ekisero ky’engoye eziddugala ate n’ekirala nga kya ngoye ennyonjo. Ate bw’omala okugolola engoye nazo zifunire w’oziteeka. Naye ekisenge mu butuufu kyabadde kirabika bubi ddala ate nga kiwunya. Olina okubeera omuyonjo mu mbeera yonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sonso 220x290

Amagye gasse ababbi 4 omulundi...

Yabadde nga firimu eya “ssasi ku ssasi, nnyama ku nnyama,” amagye bwe gaabadde gakubagana n’ababbi e Mutundwe eggulo....

Capture 220x290

Freeman ayagala Butebi amuliyirire...

John Freeman Kiyimba awawaabidde mugagga munne Emmanuel Ssembuusi ‘Butebi’ mu kkooti ng’amuvunaana okumulebula....

Pogba23 220x290

Pogba bandimuta mu January

Abakungu ba ManU bandyevaamu ne batunda Pogba mu katale akatandika omwezi ogujja oluvannyuma lw’okuweebwa amagezi...

Skysportsancelottinapoli4862833 220x290

Napoli efuumudde Ancelotti

Nga bakyali mu ssanyu ly’okutimpula Genk eya Belgium ne batuuka ku luzannya lwa ttiimu 16 olwa Champions League,...

Olegunnarsolskjaer271019 220x290

Ole Gunnar Solskjaer aliisa buti...

Obuwanguzi obuddiring’ana ku Spurs (2-1) ne Man City (2-1) bucamudde abagagga ba ManU ne bakakasa omutendesi Ole...