TOP

Omusumba eyanzaalamu anneekweka

By Musasi wa Bukedde

Added 28th February 2019

Omusumba oyo bwe yandaba n’ahhamba nga bwe yali ngamba ayagala omuwala atazaalangako kuba naye tazaalangako era ne tukwatagana ne tutandika okwagalana naye ng’abantu abalala mu kkanisa tebakimanyi kuba ku kkanisa tetwayogeranga ng’atera kunsanga bbali wa kkanisa.

Flavia22 703x422

Flavia Namigadde

NZE Flavia Namigadde 30, mbeera Kawempe Kyebando.

Mu 2014, mukwano gwange yantwala ku kkanisa ya Brother omu e Nansana okusaba.

Omusumba oyo bwe yandaba n’ahhamba nga bwe yali ngamba ayagala omuwala atazaalangako kuba naye tazaalangako era ne tukwatagana ne tutandika okwagalana naye ng’abantu abalala mu kkanisa tebakimanyi kuba ku kkanisa tetwayogeranga ng’atera kunsanga bbali wa kkanisa.

Waayitawo emyezi esatu nga twakeyagala ne nfuna olubuto ne mugamba nti ndi lubuto kwe kuhhamba nti mubuulire ssente ze njagala ezisobola okuggyamu olubuto nti ye talwagala naye nze ne hhaana okuluggyamu.

Nakuza olubuto nga mbeera ne bazadde bange nga bwe musaba ampangisize ennyumba naye nga tafaayo. Bwe lwaweza emyezi mukaaga olwo n’ampngisiza ennyumba. Wabula bwe nnamala okuzaala, bangoba mu nju eno anti yali takyasasula.

Namulemerako okumpa obuyambi bw’omwana naye nga si byaliko nange obusungu ne bunkwata ne hhenda ku kkanisa ne nkoona amadirisa ne gaatika ne bantwala ku poliisi y’e Nansana ne bansiba wiiki bbiri naye ne bamukozesa endagaano y’okumpanga emitwalo 13 buli mwezi okulabirira omwana.

Ku poliisi ne bwe bamuyita tagenda wabula alina omuntu gw’asindika kyokka ssente tazimpa bulungi. Ebiseera ebisinga banteekako obukwakkulizo nti nsooke mbalage gye mbeera balyoke bampe ssente z’omwana. Omwana atuuse okusoma naye asigala waka lwa butaba na ssente za fiizi. 

Essimu ze ze nnali mmanyi yaziggyako omwaka oguwedde ate ne ku kkanisa takyabeerayo ate nga sirina muntu we yenna gwe mmanyi wadde okumanya gye bamuzaala. 

Buli bwe hhenda ku kkanisa ne mbagamba nti njagala kulaba musumba bahhamba nsooke mbawe ekiweebwaayo kya 50,000/- nti atagirina tamulaba. 

Kati nsobeddwa kuba omwana atuuse okusoma naye tasoma. Alwala buli kaseera naye ssente z’obujjanjabi sizifuna kyokka ne Musumba simanyi waakumunoonyeza ate nga sikola.

Wabula Bukedde bwe yayogeddeko n’omu ku bantu ba Musumba ayitibwa Emma, yagambye nti okuva abakulu ba kkanisa bwe baategeera ensonga za Flavia, Musumba baamuyimiriza ku mirimu gya kkanisa era obuvunaanyizibwa bwonna ne babumukwasa.

Yayongeddeko nti n’obusente obutono Flavia bwafuna  abalokole mu kkanisa be babusonda naye nga bamuyamba buyambi kuba tetumanyi Musumba gye yalaga.

Flavia asaba emitwalo 50 nti atandisa omwana okusoma n’ebisale by’essomero naye ezo ssente nnyingi ffe twamugamba tumuwa emitwalo 15 ziyambeko ku mwana okusoma naye yagaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...