TOP

Omusajja yafunye omukazi omulala

By Musasi wa Bukedde

Added 4th March 2019

SSENGA nina ekizibu, omwami wange yafuna omukyala omulala kyokka tubadde tutegeka kukyala waffe. Nina abaana batano era yanzimbira ennyumba. Kati ebyokukyala mbiveeko. Ate mu ddiini yange omusajja alina kubeera na mukyala omu, nkoze ntya? Yambuulira nti omukyala amulina era ennaku zino asuulayo.

Ssenga1 703x422

SSENGA nina ekizibu, omwami wange yafuna omukyala omulala kyokka tubadde tutegeka kukyala waffe. Nina abaana batano era yanzimbira ennyumba. Kati ebyokukyala mbiveeko. Ate mu ddiini yange omusajja alina kubeera na mukyala omu, nkoze ntya? Yambuulira nti omukyala amulina era ennaku zino asuulayo.

Okusookeera ddala nkimanyi kiruma nnyo ate okuwulira ng’omwami yafuna omukyala owookubiri ate nga mutegeka kukyala. Wabula nze ndaba nga mwalwawo okukyala kubanga oluusi abasajja abamu bw’alaba nga teri kimugaana kufuna mukyala mulala akikola. Kati ggwe mu butuffu olinga muganziwe kubanga tomanyiddwa.

Ate ekirala, wadde ogamba nti eddini tekkiriza naye abasajja bawera abalina abakyala abasukka mw’omu naye ng’eddiini tekkiriza. Kale leka kulowowoza nti tasobola kufuna mulala kubanga ate gwe tomanyiddwa mu ddiini era kimanyiddwa nti si musajja mufumbo. Oba ddala akwagala agenda kugenda mu maaso okukyala ewammwe. Era kino kye kiseera okwogera ku nsonga eno olabe ky’agamba.

Togaana bya kukyala kubanga mwembi temuli bakyala be. Okuggyako nti gwe nga bw’aludde naawe obeera mukyala mu mateeka naye ate eddiini tekumanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mpolo9webusebig 220x290

Bakatikkiro b'ebika bafunye essuubi...

Ssaabawolereza wa Mmengo, Christopher Bwanika yasabye ebika okuwandiisa enkiiko z'abayima era balambike bulungi...

Renah1 220x290

Renah Nalumansi azaalidde maneja...

Omuyimbi Renah Nalumansi azaalidde Justin Bas omusika ne yeewaana "sikyali mu kiraasi ya ba laavu nigga"

Tegula 220x290

Mutabani, buno bwe butaka bwaffe...

MUTABANI wa Bobi Wine akuze. Era nga taata ow’obuvunaanyizibwa, Bobi Wine takyaleka mutabani we waka.

Fun 220x290

Nakakande yeeriisa nkuuli mu Miss...

NNALULUNGI wa Uganda, Oliver Nakakande (owookubiri ku ddyo) ayongedde okutangaaza emikisa gye okuvuganya mu mpaka...

Kubayo 220x290

Eddy Kenzo Guma newange bibuuza...

ABAYIMBI Jose Chameleone ne Eddy Kenzo baabaddeko mu kivvulu kya Wizkid e Lugogo. Baalabiddwaako nga beesika mu...