TOP
  • Home
  • Buuza Ssenga
  • Eddagala lya 'herbal’ linannyamba okumponya kookolo wa nnabaana?

Eddagala lya 'herbal’ linannyamba okumponya kookolo wa nnabaana?

By Musasi wa Bukedde

Added 12th March 2019

NDUDDE nga Nnumizibwa mu ndira era nga nkozesa eddagala ly’ekinnansi (herbal) naye sifuna njawulo. Kati nagenze mu ddwaaliro ne baηηamba nti nina kookolo wa nnabaana. Senga nkoze ntya, ‘herbal’ ayinza okunnyamba oba nsigale mu ddwaaliro ezzungu?

Ssenga1 703x422

Munnange ng’olabye! Ennaku zino endwadde nnyingi zikona oba zikula naye ng’abantu tebafunye bujjanjabi butuufu.

Kati omuntu agenda okumanya ekituufu ng’obulwadde bukuze nnyo. Kookolo wa nnabaana ssinga azuuliddwa nga yaakatandika bakujjanjaba n’owona. Ate ekibi nti oyinza okuba nga bakujjanjaba nga tolabawo njawulo naye ate n’oyongera kugenda ew’omusawo oyo atakuwonya.

Ate basawo bano ebiseera ebisinga babaggyako ssente nnyingi okusinga kw’ezo z’owaayo ng’ogenze ew’omusawo omutuufu.

N’ekirala, abasawo bakubiriza abakyala okwekebezanga kookolo wa nnabaana oba ow’omumwa gwa nnabaana. Era nga bwekiri mu basajja nti balina okukebera ‘prostrate cancer’. Kati mwana wange amagezi ge nkuwa gumira w’oli kati mu ddwaaliro ezzungu.

Kimanyiddwa nti wano mu Uganda teri ddagala lisobola kuggyawo oba okuwonya kookolo.

Olina okugenda mu ddwaaliro ezzungu ne bakuyamba ate bw’abeera tannakula nnyo osobola okuwona nga bakuteese ku ddagala.

Newankubadde abantu baagala nnyo ‘herbal’ naye alina by’atasobola kukola. Ate era mu ‘herbal’ mulimu abafere. Mu ddwaaliro eddene bakubuulira ekituufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit16 220x290

Eyali yagongobala ateredde n'asuubiza...

Eyali yagongobala ateredde n'asuubiza okuddayo okusoma

Siminyu703422 220x290

Ab'ekitongole ekigaba paasipooti...

KAMISONA Brig. Johnson Amanya avunaanyizibwa ku Paasipooti n’okulondoola abasaba obutuuze, yategeezezza Bukedde...

Funa 220x290

Eddiini yannemesa ekyana

ENSONGA z’eby’omukwano tezimbeeredde nnyangu okuviira ddala nga naakatandika eby’okwagala.

Lukwago 220x290

‘Twagala kumanya musaala gwa Byamukama’...

LOODI meeya Erias Lukwago ne Male Mabiriizi batutte okusaba mu kkooti nga baagala kkooti ebawe fayiro y’akulira...

Worship 220x290

Abantu beemulugunya ku bukambwe...

BANNAKAMPALA balaze obutali bumativu ku bikwekweto ebikolebwa ekitongole ky’amasannyalaze ekya UMEME ku babba amasannyalaze...