TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Biibino ebireeta obunkenke mu mukwano

Biibino ebireeta obunkenke mu mukwano

By Musasi wa Bukedde

Added 12th March 2019

BRIAN Ssemanda omukugu mu nsonga z’omukwano okuva mu Beauty Tips Spa agamba nti bw’oba nga wakemebwa n’olugwamu kikuleetera okulowooza nti ne munno asobola okuba ng’akola ekintu kye kimu n’otandika okumwekengera.

Blackcouplechillingoncouchantonetteduwayne800488 703x422

Oluusi waliwo lw’olowooza ekintu n’okitonda mu birowoozo byo era n’okyeteekamu.

Bw’otandika okwekengera munno, obeera oliikiriza kiri kye weetondamu ekivaamu nga tokyasobola kwesiga mwagalwawo .

Oyinza okutandika okwekengera munno nga kiva ku bintu by’owulira oba ebyogerwa, okugeza nti abasajja abalungi, abeefaako oba abayonjo baba benzi.

Oba nti abakazi abalungi tebafumba n’ebiringa ebyo, bw’ofuna omu ku bano oyinza okutandika okumwekengera ne kibalemesa.

Oluusi kiva mu butekkiririzaamu. Okugeza ng’olaba tosaanidde kubeera na muntu oyo.

Mu ngeri y’emu omumpi oba abataasoma bwe bafuna ababasingako nabo batera okwenyooma ng’alowooza nti munne alinayo abalala ebbali abamugyaamu ekiteekawo obunkenke.

Omu bw’aba yasoma nnyo. Okugeza abasajja batera okutya abakazi abasomye ennyo okubasinga kubanga ensonga ezimu bazikwata mu ngeri ya kigunjufu ekitiisa omusajja.

Era bw’asanga ng’omukazi alina ky’akoze nga ye yandibadde akikola ng’akimulekera. Abamu atandika n’okutta ku bigere mu bintu ebimu.

Embeera eno ebaleetera okwekengera muli ng’alowooza nti oyinza okuba ng’olinayo akugyamu.

Okugeza omwagalwa wo ayinza okuba n’ekisa ekingi ate ng’ayanguyira buli muntu. Waliwo abakazi nga mikwano gyabwe abasinga basajja oba omukazi nga mikwano gye abasinga basajja.

Ono bw’omufuna n’ooyiga mbeera ze oyinza okulowooza nti osanga bonna baganzi be ekiteeka obunkenke mu mukwano gwammwe, oluusi ne kiguleeta n’okusaanawo, so nga bye mulowooza si bituufu. Emirimu, nagyo oluusi gireetawo obunkenke mu mukwano.

Mu butuufu waliwo omulimu munno gw’akola ne gukuteeka ku bunkenke.

Okugeza mukazi wo bw’aba atunda mu bbaala oba musajja ng’abaggya enzigi z’abakazi, omukazi ng’akola magaasi, omusajja akozesa abakazi dduyiro mu jjiimu, abasajja abayigiriza abakazi okuwuga n’emirimu ng’egyo egyetaagisa okubeera ng’okwata mu mubiri gw’oyo gw’okolako, oluusi nagyo gireetawo obunkenke mu mukwano. Abazadde oba eddiini.

Bazadde b’omwagalwa wo naddala ab’omusajja bwe baba tebakwagala, obeera ku bunkenke nti essaawa yonna akuzzaako, ate bwe muba mwawukanya eddiini kiyitirira. Toyinza kutuula ntende nga bazadde ba munno okimanyi nti tebakwagala.

Obutazaala; Abantu abamu bw’abeera mu mbeera eno ng’akoze buli kimu bigaanyi atuuka ekiseera n’abyesonyiwa nga takyayagala kukola kintu kyonna kwaηηanga kizibu ekyo kuba alaba nga munne amulekawo essaawa yonna.

Kino kimuleetera okutandika okumwekengera buli kiseera ng’oyagala kumanya nti, ali n’ani, ayogera n’ani, akyakala n’ani, ani asinga kumukubira n’ebirala ekiyinza n’okumulemesa obufumbo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

kola z’amateeka baleme kubeera...

OLWALEERO kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde etegese olukung'aana lw’okukubaganya ebirowoozo n’okusomesa...

Chelsealampard 220x290

Chelsea eswamye Lampard

Abakulira Chelsea tebaamatidde bukodyo bwa Sarri era banditandika okuyigga omutendesi omulala

Funa1 220x290

Engeri abakola mu bbanka gye babba...

POLIISI mu kubuuliriza kwayo ku mukozi wa Barclays Bank, Nashiba Naiga agambibwa okubba obukadde 190 ku akawunta...

Sula 220x290

Abadde yeefudde mmo okubba abagagga...

POLIISI ekutte omukazi agenda mu bbaala ne wooteeeri ez’ebbeeyi okusikiriza abasajja okumukwana oluvannyuma n’abakuba...

Theresamay 220x290

Katikkiro wa Bungereza bamukase...

KATIKKIRO wa Bungereza Theresa May ofiisi emutudde mu kifuba n’alekulira. Alangiridde nti agenda kuwaayo ofiisi...