TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Akabi k’omukwano ogulimu obunkenke

Akabi k’omukwano ogulimu obunkenke

By Musasi wa Bukedde

Added 12th March 2019

WALI obaddeko mu mbeera ng’omwagalwawo akwekengera oba akuteeka ku bunkenke? Teri kinyiiza ng’okubeera n’omuntu gw’oyagala naye nga ye si mwesimbu gy’oli kubanga atuuka n’okukukozesa by’otandikoze.

Laba 703x422

Omuwala ng’ali mu birowoozo.

Oyinza n’okufuuka mbega nga tewabusoma nga Kimuli bw’annyonnyola era agamba bw’ati; “Namulabira ku kukukuta nga bwe bamukubira essimu tagikwata nga wendi.

Waakiri ng’afuluma n’agikwatira wabweru. Wano we nnamanyira nti kirabika nkuuma lubugo,” Deogratious Kimuli Koomu ku Nkuzongere bw’agamba.

N’agattako nti; Natandika okuteebereza nti kirabika abamukubira baganzi be.

Wabula tekyambeerera kyangu kumuleka kuba nali mmwagala. Natandika okweyigiriza okumukyawa nga nina kumusala nsobi zokka.

Natandika okwegendereza embeera ze ne by’akola nga bwe mukwata ensobi asobole okuntama nga simenyese mutima. Nasooka kulumika ssimu ze bamukubira ne nkizuula nga b’ayita mikwano gye ate be bamuyita sswiiti n’okumuweereza obubaka ku ssimu nga bamuwaana nga bwe bamwagala ennyo.

Olulala namuwa 200,000/- nga njagala tuzitetenkanye zitumazeeko omwezi naye nga ye ateesa kugenda ku bbiici, kugenda awutu kucakala ne mmanya nti tajja kunzimba.

Ate ng’ataayaaya n’ebikoosi by’emisege, nga tolimusanga waka ng’omukyala bw’alindirira omwami we kuba n’oluusi nga nze mmuggulira okutuusa mukwano gwe bwe yaηηamba nti ammalira budde kubanga alina omuvubuka gw’ayagala era eno ye yali entikko ya buli kimu ne mmuta.

Yandaga nti tekyamuluma kuba olwayawukana, n’atimba ebifaananyi byabwe n’omuvubuka w’ayagala ku ‘face book wall’ ye ng’amuwaana. Ate Hellen Namirimu ow’e Kiyanda agamba nti; “ Omusajja bwe yagaana okundaga ewuwe, ne ntandika okumwekengera.

Yasala amagezi n’anfunira ennyumba ne tutandika okubeera ffembi kumbe yali mufumbo ng’ambikka bbula. Agattako nti; omusajja ono yankwana naakamala okusoma ne tucakala naye nga buli bwe tuvaayo tusula mu wooteeri.

Bannange tewali kitama ng’omusajja atabaala loogi kuba ogiyingira otyayo, otya abantu okukulaba kyokka nga nze gw’asindikayo okusasula akasenge nga ye asigadde mu mmotoka, olwo bwe mmaliriza ne musindikira ennamba y’akasenge ku mesegi n’alyoka ajja.

Nagenda okulaba nga tugenda mu myezi mukaaga ne ntandika okumusaba antwaleko ewuwe naye ng’abuzaabuza mbu wala, si walungi kugenda kiro ate nga bwe nkiremerako ng’ava mu mbeera.

Oluusi ng’akola ebinsanyusa n’anzigya ku mulamwa kuba yali anjagala nnyo ate nga buli kye nsaba akimpeera mu budde naye nga muli mpulira omutima teguteredde.

Lumu yantwala mu nnyumba nga buli kimu mwekiri n’aηηamba nti we tugenda okututandika okubeera. Kino kyansanyusa era nga buli lwe ηηendayo musangayo, muli ne nkakasa nti ddala mmuliko bw’omu.

Namala kufuna lubuto nga ntuuse n’okuzaala lwe nkizuula nti musajja mufumbo, naye nga sikyalina kya kukola.

OMANYIRA KU KI AKWEKENGERA?

1Atandika okwefulukuta ekisusse. Munno bw’atandika okwekengera, atandika okwefulukutira mu bintu byo era buli kiseera ku ssimu yo ng’ayagala kugikebera. Akebera mu nsawo z’empale, essaati n’ekkooti ng’alowooza nti osanga mulimu obubaluwa oba lisiiti za loogi.

2 Empuliziganya efa. Ritah Kemirembe Bahati omukugu mu kubudaabuda abaagalana agamba nti omuntu bw’aba atandise okwogera oba okukuddamu obubi, manya nti waliwo ekitagenda bulungi.

3 Okukukemekkereza. Atandika okwongera ng’akusimaasima, okukubuuza ebibuuzo ebitali bimu otere weennyonnyoleko oba okemebwe obyasse byonna ekiraga nti alina kye yategeddeko naye nga talina mazima matuufu, lwakuba atandise okwekengera.

4 Okubuusabuusa entambula ze. Omwagalwawo bw’atandika okukwekengera ne pulogulaamu ze zitandika okukyuka ate abeera takyazikugamba. Omuntu bwe muba mu mukwano oluusi ebintu bye mukola bikwatagana naye bwe mutandika embeera nga bulyomu yeekengera munne, oyinza okumugwikiriza gy’otomusuubiriza kubeera.

Kino ate kyongera kusajjula mbeera era oluusi n’obufumbo okuggweerawo ddala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono