TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebizibu by'omukwano ogulimu okwekengera

Ebizibu by'omukwano ogulimu okwekengera

By Musasi wa Bukedde

Added 12th March 2019

Omukwano gwammwe teguggwaamu nnyombo era olw’okuba munno omwekengera, otandika okumulondalonda, okunonooza n’okumusala ensobi mu buli ky’akola ekivaamu nnyombo.

D03eab4033534e81beb4f1b249d3a787 703x422

Omukwano gwammwe teguggwaamu nnyombo era olw’okuba munno omwekengera, otandika okumulondalonda, okunonooza n’okumusala ensobi mu buli ky’akola ekivaamu nnyombo.

Bwe weekengera ennyo munno, otandika okumuzimbamu ebirowoozo ebitali birungi oluusi n’akola ne by’atandikoze.

Ekirala otandika okumuteeka ku bunkenke olw’embeera ebaawo n’atandika okukutya.

Embeera eno eggyawo omutima ogw’obumu wakati wammwe ekiyinza n’okubalemesa okwezimba kuba bulyomu atandika okukola ebibye.

Kiggyawo obwesigwa buli omu n’atandika okukweka amazima mu bintu ebimu kuba takyakwesiga bulungi ekiyinza okubabuza emirembe mu maka gammwe.

Oyinza n’okwereetera ebirwadde oba okulwaza munno ebirowoozo olw’okulowoolereza ennyo n’okumuteeka ku bunkenke.

Mutuuka ekiseera nga buly’omu takyasobola kubeera wali munne ekivaako omukwano gwammwe okusasika.

ENGERI GYE MUTEREEZAAMU EMBEERA

1 Munno tomulowooleza by’atakoze kubanga oyinza okutondawo embeera embi mu mukwano gwammwe ne mutuuka ekiseera nga bulyomu yeevuma munne.

2 Ate tonoonyereza nnyo, tononooza nnyo kuba bw’onoonyereza ennyo enkoko byerya eyinza okukulema. Ne mu nsonga z’omukwano bwe kirina okuba. Munno bw’aba ng’alina by’atakubuulidde totandika ate kubinoonyerezaako, kubanga ebivamu biyinza obutaba birungi.

3Topapa kulumba munno ne bw’aba nga y’ali mu nsobi, sooka ofune obukakafu obumuluma n’okwebuuza ku bakusingako kibasobozese okugonjoola ensonga zammwe n’obugunjufu amaka gammwe galeme kukosebwa.

4 Beera mwerufu eri munno mu bikolwa n’engeri gye muwuliziganyamu, kino kiyamba okuzimba obwesigwa mu mukwano gwammwe ekiguyamba okutinta.

5 Munno mugambe ekiba kikunyiizizza, ekikusanyusa, mugambe ekizibu ky’olina, mubuulire ku nteekateekazo ez’olunaku oba ez’omu maaso, ne bw’abaako w’akusanze takwekanga kutuuka kukubuusabuusa.

6 Ggyawo ebissaawo n’ebiriikiriza obunkenke n’okukwekengera mu makago, ng’okuggyako essimu ng’otuuse awaka bweba nga y’emumalako emirembe ate tokukuta nayo naye nga byonna obikola nga mumaze kukikkaanyaako ne munno aleme nakyo kukifuna bulala.

7 Bw’oba nga ggwe ovaako emberebezi, funa by’okola oleme kufuna budde bwa bakuleetera ηηambo kusiikuula mbeera, oyinza okulaba ku ttivvi, genda owugeko n’ebirala ebikuzimba.

8 Toteekawo mbeera eremesa nga tomanyi kika kya mulimu gwa munno.

Olina okuyiga ekika ky’omulimu gwa munno ddereeva, akola mu bbaala, munnamawulire n’ebirala. Kitegeeza nti waliwo lwalina okukomawo nga buyise oba okusulayo. Mu mbeera eno, mwogere, mukkaanye kikusobozese okumuwagira asobole okukola nga tali ku bunkenke .

9 Ate mu mbeera yonna gy’otonzeewo mu makago, gezaako okweteeka mu bigere bya munno olabe oba naawe wandyagadde munno akuyise nga bw’omuyisa.

10 Ekirala omukwano gugumiikiriza era naawe beera mugumiikiriza eri munno. Bw’okuba essimu n’atagikwata kitwale nti alina by’akola omuweemu essaawa nga bbiri, ajja kuddamu akukubire. Naye bw’ozikubira okumukumu otondawo embeera enzibu ennyo gyali ate naawe ne weeteeka ku bunkenke.

Kojja Ssemanda akkaatiriza nti n’ekisinga obukulu, beerako ne byokola ebya bulijjo nga tebikyukakyuka okugeza bw’oba wa safaali, okubira omwagalwawo essimu n’omubuuzaako buli ku makya n’ekiro nga tonneebaka.

Ate bw’oba olina abakyala abasukka mw’omu, manya obudde obutuufu bulyomu bw’omuwa ate obutuukirize.Bw’otandika okukyusa obeera ozimba n’okuliikiriza obunkenke mu bulamu bwammwe.

Funayo omuntu omukulu ate gwe weesiga mu kugonjoola ensonga zammwe sso ssi kumala gabuulira bulyomu kubanga bayinza okusajjula embeera, omukwano ne gufa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...