TOP

Omukazi ayagala kunoba

By Musasi wa Bukedde

Added 13th March 2019

NDI musajja mukulu era ne mukyala wange tumaze emyaka kumpi 45 nga tuli bafumbo. Naye kati mukyala wange ayagala kunoba.

Ssengalogo1 703x422

NDI musajja mukulu era ne mukyala wange tumaze emyaka kumpi 45 nga tuli bafumbo. Naye kati mukyala wange ayagala kunoba era ng’okusinga abaana be baagala anobe. Tannambuulira naye mbiwulira era ne paasipoota yafuna. Nnina muwala wange ali Bulaaya kati baagala kumutwala alabirire abazzukulu. Naye muwala wange omu yangamba nti maama simukkiriza kugenda kubanga ayinza obutadda. Nkole ntya? omukyala yeeremye.

Abaana ennaku zino naddala nga bakuze basobola okulemesa amaka. Ate abakyala abamu abaana bwe bakula batandika okuwuliriza bamaama baabwe era basobola n’okusalawo okukola ekintu ng’okumunobya.

Omukyala ono mukulu era yeetaaga okubuulirirwa kwa bakyala banne abakulu nga bagumidde mu bufumbo. Ekirala weewuunya ekimutwala ku myaka gy’alina okulera abazzukulu. Sigaanyi kiyambako muwala wammwe naye ate amaka aba agalekedde ani? Bw’aba agenda kukyalako tekirina mutawaana naye okubeerayo naddala ku myaka gino nze ndaba waliwo obuzibu.

Nsuubira olina abakyala abakulu abasobola okwogera n’omukyala ono. Era ekkanisa, oba omuzigiti nabyo bisobola okuyamba ku nsonga eno kubanga abakulu b'eddiini  baagala abafumbo kubeera wamu naddala nga mukaddiye. Naye era tekigaana kuwuliriza ky'agamba ku nsonga eno.

Naye okutuuka okufuna paasipoota nga takubuulidde kyaliko agenda kudduka buddusi. Olina okutandikirawo nga tannabuuka, ate bw'alisawo okikola era olina okutandika okulowooza ku ngeri gy'ogenda okubeerawo nga tolina mukyala. Ani anaakulabirira kubanga kyemmanyi okuze. Abaana banaakuteerako omukozi?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top11 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo...

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo z’amapaapaali akola ku maaso ne kookolo ? Soma wano mu mboozi z'omukenkufu

Wat12 220x290

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula...

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula Vipers mu Stambic Cup

Kot1 220x290

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti...

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti Getrude Nakabira afudde

Faz1 220x290

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu...

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu luwummula n'akomyawo faaza Musaala

Lip2 220x290

Mungobye ku kyalo naye nja kufa...

Mungobye ku kyalo naye nja kufa n’omuntu