TOP

Omutwe gummazeeko emirembe!

By Musasi wa Bukedde

Added 13th March 2019

OKUVA lwe nnafuna omulimu, nnumwa omutwe era nsiiba nnumwa. Naye ate ng’awaka tewali kikyuse kubanga mukyala wange abadde akola era nga tukwasiza wamu.

Ssengalogo1 703x422

Baηηamba nti abangoba ku mulimu bandoga nneme kuddayo anti bangoba awatali nsonga. Ssenga ddala kituufu bandoga?.

OKUSOOKERA ddala omuntu ng’obadde okola ate omulimu ne guggwaawo mangu kirina okukuyisa obubi kubanga otandika embeera gy’obadde tomanyidde. Newankubadde nga munno asobola okuyimirizaawo amaka naye nnannyini maka kikuyisa bubi okubeera mu mbeera nga kumpi gwe mukyala ate era nga ggwe musajja.

N’ekirala kirabika okuva ku mulimu tebyali birungi kale nsuubira ebyo byonna bwe bibeera mu bwongo, omutwe gulina okukuluma kuba ebirowoozo birumya omutwe. Ate ng’ofunye ebizubu, kiba kirungi n’obuulirako banno kubanga olwo ekizibu kiwewuka.

Okusookera ddala, omutwe leka kuguzannyisa, bantu bangi bafudde naye ng’ekizibu birowoozo mu bwongo.

Genda olabe abakugu oba yogerako n’abantu be weesiga ku mbeera gy’olimu. Ebizibu bino bangi babifuna era abamu ne bafa.

Eby’okuloga sooka obiteeke ku bbali olabe ng’owonya omutwe. Ate omusawo mubuulire ekituufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...

Mushroomscanbeeatenfreshwebuse 220x290

Lya obutiko okuzimba obwerinzi...

Ensonga 4 lwaki olina okulya obutiko

Gugu 220x290

Museveni tayagala kuggya musolo...

PULEZIDENTI Museveni ategeezezza nti tawagira kya gavumenti okubinika amasomero n’amatendekero ag’ebyenjigiriza...

Ssentebesserwangaomubakawantenjerusouthfredbasekerdcmwanamoizanabakunguabalalangabatemaevvuunikeawagendaokuzimbibwaessomerowebuse 220x290

Gavumenti yaakuzimbira ab'e Kayunga...

Ab'e Kayunga bagenda kuzimbirwa essomero lya siniya lya bbiriyooni bbiri nga n'evvuunike lyaggwa okutemebwa

Abantungabalingizamuddirisaokulabaomulambogwakantonoekifsaulwokulira 220x290

Asse mukazi we naye ye yeetuga...

Omusajja atemyetemye mukazi we n'amutta n'amulesa ebbujje ery'emyezi musanvu