TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ndabye ennaku okuva baze lwe baamusiba

Ndabye ennaku okuva baze lwe baamusiba

By Musasi wa Bukedde

Added 13th March 2019

EBBANGA baze ly’amaze mu kkomera, mbonyeebonye n’ensi ne ntuuka n’okugyevuma. Nze Justine Namukoye 24 mbeera Kawempe Lugoba.

Young 703x422

Twayagalana ne baze mu mu 2017 ku Kaleerwe nga nkola mu kalwaaliro akamu nga ndi musawo ate ye nga makanika mu galagi emu era ku Kaleerwe.

Yali omu ku balwadde bange be najjanjabanga Mu mbeera eyo, yannegomba n’atandika okunkwana n’antegeeza nga bwe yali tayagala nkome ku bulwadde bwa mubiri bwokka wabula mmujjanjabe ne mu by’omukwano.

Yatwala ekiseera ng’amperereza n’okundaga omukwano era okukkakkana nga nzikirizza era awo omukwano gwaffe we gwatandikira.

Yansaba nve mu kazigo mwe nnali nsula tutandike okubeera ffembi bwentyo nange ne nzikiriza era ne tutandika obufumbo bwaffe Nga wayise ebbanga, nafuna olubuto era ne mutegeeza bambi n’asanyuka.

Kino kyanneewuunyisa kuba nnali ndowooza nti naye alinga bano abayaaye b’oku Kaleerwe wabula omukwano gwaffe gweyongera bweyongezi n’okusinga bwe gubadde.

Twagenda mu maaso n’okutambuza obufumbo bwaffe nga bwe tukuza n’olubuto era nga tuli basanyufu newankubadde ssente tetwalina nnyingi naye nga tulina ezitubeezaawo.

Ekiseera kyatuuka baze n’afuna obuzibu bwe yatomeza emmotoka y’omu ku bakasitoma be baakanikira n’atomera omuntu n’afi irawo.

Yagenda ku poliisi okuwa sitatimenti wabula teyadda era ne bamusiba. Nategeera luvannyuma nti baamusiba n’okutuusa kati.

Nsaba famire ya baze ekkakkane kuba ssente ze batusaba nnyingi kyokka nga ne ze twakabawaako tebazibala ate ng’obukadde bwe basaba sibulina kuba sikola.

Ssinga mbadde nazo nandizibawadde ne bata omwami wange kuba mpita mu kaseera akazibu nga n’ennyumba landiroodi yatugoba nsula ku makubo.

Nasaba abazirakisa bannyambe nfune eky’okukola nsobole okulabirira omwana wange ne baze mpeeyo ssente ave mu kkomera. Ndi ku ssimu 0751910073.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte