TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Sandra yanzigya mu bakifuufu n’anfuula omwami

Sandra yanzigya mu bakifuufu n’anfuula omwami

By Musasi wa Bukedde

Added 13th March 2019

Sandra okukkiriza okunjagala yanzigya mu bakifuufu n’anfuula omuntu ow’enjawulo kati ndya nga mulangira. Nze Joseph Jiiramusu 24, mbeera Nsambya.

Sandu 703x422

Jiiramusu ne bbebi we, Sandra nga bali mu mukwano.

Twalabagana ne Sandra emyaka 3 emabega ne tukkiriziganya okwagalana naye kye nnyinza okwogera ku Sandra, mukyala mu bakyala kuba ye yanfuula kyendi kati.

Okumulaba namusanga waabwe e Nateete era baali baliraanwa ba mwanyinaze nga nze nagendayo ku kyala kyokka ebbanga lye namalanga nga nkyalawo, embeera za Nampijja zaneegombesa olw’engeri gye yeeyisangamu ng’azzeeko ewa mwannyinaze.

Yali muwala mukkakkamu era bwe nalaba ankoledde, kwe kuyitiramu mwannyinaze ne musaba anfunire ku nnamba ye ey’essimu era n’akinkolera.

Natandika okutokota mwanamuwala ono okutuusa bwe yakkiriza wadde nga teyali mwangu kuba yanneetolooza okumala ebbanga.

Bwe yanzikiriza, olwo n’atandika okusoma embeera zange kuba ndi muvubuka omugayaavu nga nnyinza n’okwambala engoye wiiki bbiri kuba okwoza kyali kizibu kyange nga n’okweyonja bwali bunafu bwange.

Naye okuva bwe namusisinkana, endabika yange yakyuka era abaali bampisaamu amaaso kati bansembeza kuba wadde nali nfuna ssente, naye ng’okweyonja kunnema ekintu Sandra kye yakyusa kati ntuula n’abalangira.

Ng’oggyeko ebyo, Sandra alina omukwano, ate nga wa mukisa kwe gamba ffe okusisinkana, Katonda yatuggulirawo essuula empya mu bulamu bwaffe era kati ntambula nzimba anti yampa n’ezzadde era kati ndi taata omusanyufu.

Empagi kwe tutambuliza omukwano gwaffe mwerufu buli omu ayogera ekiba kimunyiizizza ku mutima ne twewala okuteekawo obusambattuko mu mukwano gwaffe.

Sandra nkusuubiza okukulaga omukwano nga gwe bw’ogundaga n’okugenda mu bazadde mu butongole kuba nkakasizza omukwano gwaffe gwa kuwangaala paka kufa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Looya alaze engabana y’emmaali...

Looya alaze engabana y’emmaali

Kip3 220x290

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane...

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

Kip2 220x290

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa...

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

Hot3 220x290

Maama bangi be wasigamu ensigo...

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Hot3 220x290

Twakufuna nga kirabo okuva eri...

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi