TOP

Omusajja talina 'waaka'

By Musasi wa Bukedde

Added 14th March 2019

Ssenga nina omusajja talina waaka ate alina sitayiro emu yokka. Nkole ntya kubanga ntya okuswala ewaffe nga nfunye omusajja omulala.

Cartoonamaze1 703x422

Talina 'waaka'

Ssenga nnina omusajja talina 'waaka' ate alina sitayiro emu yokka. Nkole ntya kubanga ntya okuswala ewaffe nga nfunye omusajja omulala. Omusajja ono namwanjula  era tuli mu nteekateeka za mbaga naye ndaba talina gy’antwala n’embeera eno. Omusajja baamundabira naye talina waaka.
 
Omusajja atalina waaka mpulira nti y’oyo atasobola kukumatiza ng’amalamu mangu akagoba. Bwe kiba bwekityo, kati nga bw’oyingidde obufumbo olina okulaba ng’ensonga eno ne ssenga wo mugibeeramu. Sigaanyi baamukulabira naye okumulekawo kiyinza obutalabika bulungi.

Ekigambo kya sitayiro emu abasajja abasinga gye batambuliramu. Sitayiro eno ya butonde naye tekigaana kukyusaamu. Abasajja abamu balowooza nti singa okyusa sitayiro obeera mugwenyufu, naye nga kino si bwe kiri. Abafumbo balina okulaba ng’okwegatta kubasanyusa era mu kubasanyusa, balina okuyiiya. Ono mwamiwo lwaki toyogera naye bulungi ku nsonga ya sitayiro.

N’ekirala oba takumazisa, lwaki tomubuulira? Kubanga okwegatta kwetaaga empuliziganya wakati wammwe. Ate abasajja abasinga kye batamanyi nti ennaku zino abakyala bakimanyi nti nabo balina okufuna essanyu mu kwegatta. Kale buli musajja oba omukyala alina obuvunaanyizibwa okusanyusa munne. Olina okufuna engeri gy’oyogera naye aleme kuwulira bubi.

Ate era mugambe nti bw’amalamu amangu akagoba kikuyisa bubi, ayige okukulindako. Kino kikole ng’olaba nti munno ali mu mbeera nnungi. Ate tobyogera nga mugenda kwegatta kubanga amaanyi gagenda kubulira ddala. Omusajja sigaanyi baamukulabira naye tolina kya kukola kubanga kati okwanjula kwaggwa, olina kufuna ngeri gy’oyogera naaye bulungi n’akyusamu.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...